“NSANYUSE okulondebwa ku bwannalulungi bwa Uganda omwaka guno era nsuubiza okukola ebinaayamba abakyala,’’ Byabadde bigambo bya Elle Trivia Muhoza, eyawangudde engule y’obwannalulungi bwa Uganda omwaka guno.
Abawagizi Ba Muhoza Nga Bawaga
Muhoza, okuva mu disitulikiti y’e Bukomansimbi, yamezze banne abalala 23 mu mpaka z’akamalirizo ezaabadde ku Sheraton mu Kampala.
Yategeezezza nti agenda kukola nnyo ayambe abakyala abayita mu kunyigirizibwa naddala abatulugunyizibwa abaagalwa baabwe.
Abamu Ku Bawala Abaavuganyizza.
“Ensonga eyo ekosa abakazi bangi era buli lwe naafuna akakisa, nja kugyogerako,” Muhoza bwe yagambye. Mu mpaka zino, Faith Kirabo ye yakutte ekyokubiri ate Agatha Drakes Keine n’akwata ekyokusatu.
Muhoza (wakati), Kirabo (eyakutte Ekyokubiri) Ne Agatha Eyakutte Ekyokusatu.
Abawala baasoose kubeera 24 ne bagenda nga basunsulwa okudda ku 12 era mu abo ne balondamu 7, abattunse okutuusa lwe baalonzeeko Muhoza nga y’asinze mu banne. Bonna baabasoyezza ebibuuzo ku nsonga ez’enjawulo era abamu ne batamattama.
Amina Nalubega, Tiktoker Amanyiddwa Nga 'errands Runner' Yatikkiddwa Ekya 'rising Star' Ne Miss Popularity Kata Essanyu Limutte
Waabaddewo okugaba engule ez’enjawulo okwabadde eya Miss Popularity, Beach Beauty, Top Model, Miss Personality, Miss Talent n’endala.
Bakira abavuganya bava ku siteegi okugenda okwetegeka ng’abayimbi okwabadde Azizi Azion, Tracy Melon ne Grace Nakimera basanyusa abantu.
Grace Nakimera Ng'ayimbira Abaabaddeyo.
Asha Mukunde, maama wa Muhoza yeebaziza Katonda eyasobozeseza okumutuusa ku buwanguzi. Muhoza yaweereddwa ebirabo eby’enjawulo okwabadde mmotoka ekika kya Wish.