Eyameggebwa ogw'ekibanja ayisizza mu kkooti olugaayu

Haji Kyobe ng'aliko by'afalaasira
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision

Bassebo kituufu omusango gw’ekibanja gwammeggerayo mu kkooti naye sirina gye ndaga. Mukwano gwange omukazi eyakimpa okukikuuma amala kujja wano!!!!

Musajjamukulu ow’emyaka 85 atabuse: Waakiri okufa naye siva ku kibanja 
 
Musajjamukulu ow’emyaka 85 yeekalizza mu bamugobaganya ku kibanja kye bagamba nti yakinyaga bunyazi n’abategeeza nti waakiri okufa naye tajja kukivaako.
        Asesezza abatuuze bw'agambye nti ekibanja kye bamugobako waliwo omukazi mukwano gwe gw'atakyajjukira mannya wadde bw'afaanana eyakimuwa okukikuuma nga kati emyaka 40 bwe ddu era n’ababuuza gye babadde ebbanga eryo lyonna.

      Hajji Muhammad Kyobe omutuuze ku kyalo Namatogonya mu ggombolola y'e Kayunga, ategeezezza nti waliwo omukazi eyamupangisa ekibanja kino n’amukomekkereza obutakiwa muntu yenna. 

Haji Kyobe ng'annyonnyola

Haji Kyobe ng'annyonnyola


         Kino kiddiridde abaana b'omugenzi Patrick Kiyuba nga bakulembeddwamu Jackie Kiyuba okutegeeza nti kkooti yasala omusango Mzee Kyobe gwe yaloopa ng’awakanya abaana ba Kiyuba okumuggyako ekibanja kino ekiwezaako yiika mukaaga wadde omusango baaguwangula ne kkooti n’eragira Kyobe okubasasula obukadde busatu. 
        Mzee Kyobe  akkirizza nti bwe yaloopa mu kkooti omusango gwamumeggerayo n’amulagira n’okusasula obukadde busatu kyokka omulamuzi teyalagira nti ekibanja ky’abaana ba Kiyuba.
         Ssentebe w'e Namatogonya, Moses Sande agambye nti bbo aba LC ensonga zino zaabanyiwa kye yava asalawo okuziweereza ku disitulikiti kubanga kkooti yasalawo dda ekituufu. 
        Collins Kafeero ow'eddembe ly'obuntu, abaana n'amaka ku disitulikiti y’e Kayunga ng’ali ne Mohammed Ssebuliba owa poliisi n'omuntu wa bulijjo batuuzizza enjuyi zombi ku kyalo ne basaba Mzee Kyobe akole amazima awe abaana ekibanja kubanga alina ekibanja ekikye ate kinene.