Amawulire

Eyafiirwa omugole ennaku 3 nga yaakamwanjula alangiridde nti ayagala mubeezi mulala!

OMUGOLE Naggayi olumbe lwamukwatira ku mukolo ng'ayanjula bba Ntale mu maka ga bazadde be e Nswanjere mu Gomba mu July

Eyafiirwa omugole ennaku 3 nga yaakamwanjula alangiridde nti ayagala mubeezi mulala!
By: John Bosco Sseruwu, Journalists @New Vision

SADIQ Ntale oluvudde mu dduwa ya mukyala we Shakirah Naggayi ey'ennaku 40 n’alangirira nti kati ayagala mubeezi mulala agenda okumunyiga ebiwundu ku mutima n'okumunaazaako ennaku.

Naggayi olumbe lwamukwatira ku mukolo ng'ayanjula bba Ntale mu maka ga bazadde be e Nswanjere mu Gomba mu July w'omwaka guno era waayita ennaku ssatu zokka n’afa.

Sadiq Ntale Asooka Ku Ddyo Mu Kusoma Edduwa Ya Mukyala We Naggayi Ey'ennaku 40

Sadiq Ntale Asooka Ku Ddyo Mu Kusoma Edduwa Ya Mukyala We Naggayi Ey'ennaku 40

Wabula Ntale ataddewo obukwakkulizo eri abamwegwanyiza nga mu bumu ku bwo mulimu okulabirira obulungi abaana abasatu omugenzi be yamulekera okuli n’ow'omwaka ogumu n'ekitundu.

Naggayi yafa tayogedde kitaawe w'abaana ababiri okuli ow'emyaka omukaaga n'omulala ow'emyaka ena nga n'okutuusa kati tewali musajja yali avuddeyo kubasaba.

Ntale agamba nti omukazi yenna anakkiriza okulabirira obulungi abaana bano awatali bukuusa nti agenda kuba amwewangulidde.

Edduwa yabadde mu Kkulubya Cell mu Lukaya Town Council e Kalungu Ntale gy'abeera nga yeetabiddwako abatuuze ne bannaddiini abaasabidde omugenzi okuwummula emirembe.

Sheikh Muniru Ssebaggala atwala omuzigiti gwa Mariam e Lukaya yategeezezza nti ekigendererwa ekikulu kibadde kya kusabira mugenzi ekiwummulo eky'emirembe n'okwongera okugumya Ntale nti ayongere okunywerera ku Katonda nti asobole okuvvuunuka obulungi okusoomoozebwa kw’azze ayitamu.

Abalala okuli Sheikh Muhammad Luutu, Sheikh Afiizu Luswata n'abalala bavumiridde ebikolwa by'ettima ebifumbekedde mu bantu ne babakuutira okwongera okusembeza Katonda mu mitima nti basobole okubyewala.

Omugole Shakirah Naggayi Eyafudde Wano Ngali Ne Bba Sadic Ntale Baabadde Mu Kwanjula Ku Sande

Omugole Shakirah Naggayi Eyafudde Wano Ngali Ne Bba Sadic Ntale Baabadde Mu Kwanjula Ku Sande

Kkansala Nuhu Sulaiman Kisaka akiikirira omuluka gwa Kaliro Cell ku Lukaya Town Council eyakulembeddemu entekateeka z'edduwa eno yeebazizza bonna abayimiridde nabo.

 Ono okusingira ddala yasiimye Bukedde eyakuba eggulire eryasitula abazirakisa okuli ne Pulezidenti w'abasawo b'ekinnansi Sylivia Namutebi amanyiddwa nga Maama Fiina, eyawa Ntale bodaboda empya nti ekyusizza obulamu bwe.

Sarah Namutebi Jjajja wa Ntale yayogedde engeri gy’azze abudaabudamu muzzukulu we ono okuva lwe yafiirwa munne, era ne yeebaza abantu abamubeereddewo okumuyamba okuyita mu mbeera.

Wabula Ntale yagumizza Nazaala we Resty Nambirige ataasobodde kubeera ku Dduwa eno olw'okuba nga mu wiiki ewedde yaziise omutabani Yusuf Kikoyo mukulu wa mukyala we omugenzi Naggayi nti ng'ono naye yafudde obulwadde obutaategeerekese.

Tags:
Amawulire
Mugole
Mubeezi