Kiddiridde ono okusimbibwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Amon Mugezi n’amusomera omusango gw’obubbi era n’agukkkiriza.
Kyazuuliddwa nti mu September 13, 2022 e Kasubi Kule yabba bbookisi z’amazzi ga ice 16, Minute Maid 8, eya Sting emu, Oner nnya, saketi za ssooda wa Pepisi ttaano, Rwenzori bbiri, Rock boom bbiri, Cocacola bbiri n’ebyokunywa ebirala nga bibalirirwamu obukadde bubiri n’emitwalo 30 ebya Gertrude Zalwango nannyini dduuka eryo.
Olwamaze okumusomera bino, yakkiriza wabula n’asaba kkooti okuteesa ne Zalwango naye kye yakkirizza era ne yeeyama okuddayo mu kyalo asale ku kibanja kye akitunde asasule ssente ezo.
Gertrude naye yakkiriza n’ategeeza nti yali akozesa omwana oyo wabula ku olwo tamanyi kyamutengula ku mubba. Bano baatadde omukono ku ndagaano ku ebyo bye bakkirizza okudda e Kasese atunde ku ttaka lye akomewo e Kampala asasule.
Omulamuzi ffayiro yagiggaddewo n’ayimbula Kule nga bw’anaalemererwa okusasula waakukwatibwa addemu avunaanibwe.