ABANTU 36 abagambibwa okubeera emabega w’ebikolwa eby’okubba, okusobya ku bakazi n’okunywa enjaga, bakwatiddwa poliisi e Mbale.
Baabayodde mu Busamaga Forest, Nabuyunga rise, Aswan Central Mkt e Mbale n’ebifo ebiriraanyeewo ng’okubasunsulamu kugenda mu maaso.

Enjaga Gye Baabasanze Nayo
Kiddiridde okwemulugunya kw’abasuubuzi n’abatuuze mu kitundu ekyo olw’obumenyi bw’amateeka okweyongera omuli okubba, okumenya amayumba n’okukwata abakazi.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti babakutte n’amajambiya era okubuuliriza n’okubasunsulamu kukyagenda mu maaso.