Amawulire

Eyabadde ava okukubagiza abaafiiriddwa basanze naye afiiridde mu buliri kumakya

OMUTAKA  w’e Makindye Ssabagabo eyagenze okukubagiza baliraanwa abaafiiriddwa ow'oluganda lwabwe ekibwatukira baamusanze afiiridde mu buliri mu wiiki emu. Okusinziira ku biriwo, kati abantu basatu be baakafa ekibwatukira ku kyalo kye kimu.

Eyabadde ava okukubagiza abaafiiriddwa basanze naye afiiridde mu buliri kumakya
By: Wasswa Ssentongo, Journalist @New Vision

OMUTAKA  w’e Makindye Ssabagabo eyagenze okukubagiza baliraanwa abaafiiriddwa ow'oluganda lwabwe ekibwatukira baamusanze afiiridde mu buliri mu wiiki emu. Okusinziira ku biriwo, kati abantu basatu be baakafa ekibwatukira ku kyalo kye kimu.

Ssanduuko Omwateekeddwa Omubiri Gwa Kaggwa

Ssanduuko Omwateekeddwa Omubiri Gwa Kaggwa

Vincent Kaggwa 69, abadde omutaka ku kyalo Kanaaba mu muluka gw’e Ndejje e Makindye Ssaabagabo ye yafudde ekibwatukira era abadde makanika wa ttivvi n’amasimu ng’akolera waka we.

 

Isma Ssennyonjo omukoddomi w’omugenzi yategeezezza nti Kaggwa kati omugenzi yabadde nga tannafa yasoose kugenda ku muliraano okusuza abaafiiriddwa omuntu waabwe eyategeereseko erya Frank ng’eno yavuddeyo ku ssaawa 5:00 n’adda ewuwe  okuwummulamu.

Abakungubazi abazze okuziika omugenzi. Mu ggomasi eya bbulu ye Nannyonjo, nnamwandu W'omugenzi.

Abakungubazi abazze okuziika omugenzi. Mu ggomasi eya bbulu ye Nannyonjo, nnamwandu W'omugenzi.

Ku ssaawa 6 ez’ekiro, nnamwandu Rose Nakato Nannyonjo 61, we yalabidde ettaala mu kisenge ng’eyaka n’alagira omu ku bazzukulu okugenda okugiggyako era ono ye yabagambye nti jajja alabika yabadde afudde.

 

Baagenze okumukeberako  nga kituufu  afudde. Omugenzi yalese abaana 12 n’abazzukulu abawerako era yazikiddwa eggulo ku Lwokusatu  ku kyalo Kijjukira mu disitulikiti y’e Luweero.

Abamu Ku Bamulekwa.

Abamu Ku Bamulekwa.

Jane Nansubuga omu bamulekwa yagambye nti kitaabwe abadde talina wamuluma era bwe yava ku lumbe yatuuka bulungi awaka. Yategeezezza nti kyabakubye wala okumusanga ng’afudde.

 

Yayongeddeko nti  ekisinze okubeewuunyisa mu kitundu kye kimu ku kyalo ekyo, abantu kati basatu be baakafa ekibwatukira  .

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Kibwatukira
Kitalo
Makindye
Ssaabagabo
Ffamire
Kumakya