Amawulire

Ensonga z'okutwala abayizi abamaze S6 e Kyankwanzi zituuse mu Palamenti

PALAMENTI eragidde minisita omubeezi ow’ebyemizannyo Peter Ogwang okujanjulira siteetimenti ematiza ku by’okutendekebwa kw’abayizi abamaze S6 okwogerwako okubeera e Kyankwanzi.

Ensonga z'okutwala abayizi abamaze S6 e Kyankwanzi zituuse mu Palamenti
By: Teopista Nakamya ne Aminah Shakira Nalugo, Journalist @New Vision

PALAMENTI eragidde minisita omubeezi ow’ebyemizannyo Peter Ogwang okujanjulira siteetimenti ematiza ku by’okutendekebwa kw’abayizi abamaze S6 okwogerwako okubeera e Kyankwanzi.

Minisita Ogwang Ng'atangaaza.

Minisita Ogwang Ng'atangaaza.

Kiddiridde akulira oludda oluvuganya mu palamenti, Joel Ssenyonyi okwanja ensonga eno n’ategeeza nga bw’azze afuna okwemulugunya okuva mu bazadde nga bawakanya eky’okutwala abaana baabwe e Kyankwanzi okuyigirizibwa okwagala ensi yaabwe n’okutendekebwa mu by’amagye.

 

Abazadde bano yagambye nti beeraliikirivu nga beebuuza kutendekebwa nnabaki kwe batwalamu abaana baabwe era nga baagala okumanya oba kyabuwaze.

 

Bwe kuba kyakusomesa Bannayuganda kwagala nsi yaabwe, Ssenyonyi agamba ababakulembera bandibadde ekyokulabirako so si kubalagira kyakukola nga bo bakola birala.

 

Abantu yagambye beetaaga okusomesebwa okwagala ensi yaabwe nga tekwesigamiziddwa ku byekuusa na magye.

 

Ogwang mu kwanukula yasoose kutegeeza nti okuyigiriza abaana okwagala ensi yaabwe buweereza obubalagirwa  Ssemateeka w’eggwanga.

 

Tekugenda kuba kwabuwaze era kugenda  kulemberwamu ofiisi y’obwapulezidenti wadde nga kugenda kubeera mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

 

Wabula nga enteekateeka eno tennateekebwa mu nkola , sipiika Jacob Oboth yalagidde minisita Ogwang okwanjulira palamenti siteetimenti ematiza ku nsonga eno ng’erambulula ebbanga lye basuubira okumala nga batendeka abayizi n’ebiringa ebyo.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Palament
Kalulu
Palamenti
Kulonda