Ensiitaano nga UNRA eggyawo ekimotoka ekyebyewuunyo

25th June 2024

MMOTOKA emaze emyaka nga mukaaga ng’ekwamye ku kkubo ly’e Kyaliwajjala ng’ewanuuzibwako ebyewuunyisa mbu eyogera, era mbu erimu emizimu n’ababbi bagitya, kyaddaaki esiguukuluddwa wakati mu nkuyanja y’abatuuze okukungiriza n’okusaakiriza.

Ekimotoka ekyaggyiddwaawo.
NewVision Reporter
@NewVision

MMOTOKA emaze emyaka nga mukaaga ng’ekwamye ku kkubo ly’e Kyaliwajjala ng’ewanuuzibwako ebyewuunyisa mbu eyogera, era mbu erimu emizimu n’ababbi bagitya, kyaddaaki esiguukuluddwa wakati mu nkuyanja y’abatuuze okukungiriza n’okusaakiriza.
Okugisiguukulula tekyabadde kyangu kuba kyasitudde ekitongole kya gavumenti kiramba ekivunaanyizibwa ku nguudo ekya UNRA ne kisitula bamakanika ne bayinginiya abakugu na buli kyuma okuva ku magalo, ennyondo, Sipaana ezaakula ne ziwola, nga n’ensuululu n’enkumbi nabyo byaleeteddwa, olwo Bamakanika n’abakugu abalala ne bagumba e Kyaliwajjala ne bafunvubira ku kimokota okumala essaawa nga ttaano nambirira nga batetenkanya okukiggyawo.
Okusinziira ku yinginiya wa UNRA omukugu, Bonny Christopher, yagambye nti, okuggyawo emmotoka eno tekwabadde kwangu, kuba baasoose kuddamu kugikanikira wansi awo, ne balyoka bagiggyawo.
Wabula wakati mu kugikanika, mmotoka eno erina ebyuma ebyakutuse era kaabuze kata binyigire bamakanika ba UNRA wansi, olwo abantu ne bongera okusaakaanya nga bagamba nti, baabalabudde nti, mmotoka eno si nnyangu, naye ne balemerako nga bakozesa olugezigezi lwa ssaayansi.
Abamu ku batuuze, caayi n’ekyemisana baabikwatidde kummotoka eno nga beetegereza obuvumu bwa bayinginiya abaamaliridde okuggyawo mmotoka gye bagamba nti, ya Musambwa.
Abamu ku batuuze baabadde bawaga nga bwe bakalambira nti, Bayinginiya ba UNRA ne bwe baba baasomera mu Amerika tebasobola kugisiguukululawo, olw’ebyewuunyo by’erina omuli n’okuvaamu amaloboozi ng’abantu.
EBIBADDE BIWANUUZIBWA KU MMOTOKA ENO
l Bo abatuuze bagamba nti, ebbanga mmotoka eno ly’emazeewo, tewali mubbi yenna agibbyeeko kyuma, nga kiwanuuzibwa nti, buli abadde agisemberera ng’emuboggolera.
l Ate waliwo ababadde babitebya nti, mmotoka eno erimu omusota omuddugavu kagongolo nga bw’ogitunulamu nga gutuula kusiteeringi.
Okusobola okugisiguukululawo, aba UNRA bakikutuddemu emirundu ebiri ne basooka batwalako omutwe.
Kyokka abatuuze baasigadde bagamba nti, ekitundu ekyabadde kisigaddewo UNRA yabadde tejja kusobola kukiggyawo era ne basigalawo balabe ekiddako naye ekyabeewuunyisizza ye UNRA okukomawo n’eggyawo n’ekitundu ekirala, abatuuze ne basigala ng’ebigambo bibaweddeko.
ABAKULEMBEZE BOOGEDDE
Godfrey Kasasa, Town Clerk wa Namugongo Division, yagambye nti, abantu okuwanuuza kyasinga kuva ku bbanga mmotoka lye yamalawo nga tewali avaayo kugamba nti, ye nnannyini yo, kyokka bo ng’abakulembeze baasobola okumanya nnannyini yo era n’abannyonnyola ekyagituukako okutuuka okukwamira awo.
Julius Mutebi, mmeeya wa Kira yategeezezza nti, okuzuula obuzuuzi nnannyini yo, gwali mulimu munene kuba baasooka kulowooza nti, yali ya Bisase Templar naye kkanso yakola butaweera ne poliisi okuzuula nnannyini yo.

Nnannyini yo y’ani?  

Robert Tumusiime, omutuuze w’e Kyaliwajjala B, nga ye nnannyini kimotoka kino, yagambye nti, ababbi babbamu ebyuma ebyali bigisobozesa okutambula, kwe kumala ebbanga eddene ng’ekwamye.
Wabula okutuuka okugipaakinga awo, yali amanyi nti, egenda kumalawo ennaku ntono, kubanga e Kenya gye yali ekolera emirimu waaliyo okwekalakaasa, kyokka kuba kwakaggwa ate omuggalo gwa Covid ne guyingirawo, olwo ababbi ne batandika okugibbamu ebyuma omwali ne kompyuta, ezigiyamba okutambula nga ne gye buli eno abadde akyabuliddwa ssente ezigula ebyuma bino ebyabbibwamu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.