Nongoma, South Africa
Misuzulu Zulu, 47, yatuuziddwa ku Nnamulondo ya bajjajja be ng’asikira kitaawe, omugenzi, Goodwill Zwelithini era emikolo gyonna egy’obuwangwa gyamukoleddwako ku mukolo ogwefuze wiikendi yonna e South Africa.
Kabaka Misuzulu ng'amaze okutuuzibwa.
"Leero Obwakabaka bwa Zulu butandise essuula empya, essuula ey’essuubi, essuula ey’obuwanguzi," bw’atyo Misuzulu bwe yategeezezza enkuyanja y’abantu obwedda abamukubira emizira nga yaakatuuzibwa mu ntebe y’Obwakabaka.
‘’Nsuubiza okukola ennyo okugatta abantu bange ab’Obwakabaka bwa Zulu,’’ Misuzulu eyabadde atikkiddwa engule y’Obwakabaka nga bamunaanise eddiba ly’engo n’emikuufu egiriko enjala n’ebyoya by’ebinyonyi n’ensolo enkambwe bwe yasuubizza.
Abakyala Nga Batudde Ku Mukolo Gw'amatikkira.
Obwakabaka buno bulimu abantu abasukka mu bukadde 11 era abakazi, abasajja n’abaana baalabiddwaako nga bakuba ebivuga, bazina amazina g’ekinnansi n’okwolesa ebyambalo by’ekinnansi wakati mu buluulu n’okujaguza olw’okufuna Kabaka omuggya.
Agamu ku mazina agaabadde ku matikkira gano.
Bakabaka b’e Zulu batambulira mu lunyiriri lwa Kabaka Shaka Zulu eyakyaka ennyo mu kyasa eky’e 19 era ajjukirwa ennyo mu kugaziya n’okugatta Obwakabaka bwe bwe yalwana entalo eziwera n’Abangereza abaali beefuze South Afrika mu kiseera ekyo
Kabaka Zwelithini yakisa omukono (yafa) mu March w’omwaka oguwedde ng’abakulembedde okumala emyaka 50, n’aleka abakyala mukaaga n’abaana 28.
Abavubuka Nga Boolesa Amazina G'ekinnansi.
Misuzulu ye mutabani w’omugenzi omukulu Zwelithini okuva mu mukyala we nnamba ssatu ng’ono gwe yali yalonda ng’anaakuuma entebe era alonde n’omusika.
Kyokka omukyala ono naye yafa nga waakayita omwezi gumu nga Kabaka afudde, n’aleka ekiraamo ekyalagira Misuzulu okufuuka omusika wa kitaawe ekyalekawo enkaayana mu baganda be abalala okuva mu bakyala abalala.
Ebijuujulu ebyabaddeyo mu kusanyusa Kabaka waabwe.
Kyokka gye baggweeredde ng’abasalawo ab’ensonga basazeewo nti Misuzulu y’aba adda mu bigere bya kitaawe okutuusa lwe yatikkiddwa.
Obwakabaka bwa Zulu bwe bumu ku businga obugagga mu Afrika nga bulina embiri ennene obwaguuga, ettaka n’ebyobugagga ebirala.
Obwakabaka buno bulina ettaka lya yiika obukadde Musanvu nga lyenkana obunene ensi ya Bubirigi (Belgium) kw’etudde!
Pulezidenti wa South Afrika, Cyril Ramaphosa, abadde yalaga dda nti awagira Misuzulu okulya entebe eno era asuubirwa okumuwa ebiwandiiko ebimutongoza gye bujja.
Kabaka ono omupya alina abakyala babiri n’abaana bana.