Enguudo z'omu Kampala ezimu zigenda kuggalwa mu mpaka za 'CHAN'

POLIISI etegeezezza ng'eguudo ezimu mu Kampala, bwe zigenda okuggalwa mu kiseera ng'abazannyi n'abakungu mu mpaka za CHAN batuuka mu ggwanga n'okuzannya emipiira gino.

Enguudo z'omu Kampala ezimu zigenda kuggalwa mu mpaka za 'CHAN'
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amaawulire #Kampala #CHAN #Mpaka

POLIISI etegeezezza ng'eguudo ezimu mu Kampala, bwe zigenda okuggalwa mu kiseera ng'abazannyi n'abakungu mu mpaka za CHAN batuuka mu ggwanga n'okuzannya emipiira gino.

Kigambibwa nti emipiira gyakuzannyibwa mu kisaawe e Namboole so ng'okutendekebwa kwakubeera ku bisaawe eby'enjawulo okuli Namboole, Wankulukuku , Kyambogo, Fufa e Mengo, e Bukoto n'awalala.

Mu ngeri y'emu era abagenyi n'abasambi, basuubirwa okusula mu woteeri okuli eya Serena, Mestill , Skys , Sheraton ne Speke resort e Munyonyo.

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura, ategeezezza nti empaka zino zaakutandika nga Augsut 4, okutuuka nga August 29 era nga mu kiseera kino, wajja kubaawo okutaataagana mu bidduka olw'enguudo ezinaggalwa nga batambuza abakungu.

Ayongeddeko nti enguudo eziyita okumpi ne Namboole , ebidduka byakukyusibwa okuyita ku nguudo endala.