Bya Maria Nakyeyune
Avunaanyizibwa ku bisolo n'obulimi mu disitulikiti y'e Ssembabule, Dr. Emmanuel Kawooya alaalise ebikwekweto ku batunda endokwa z'emmwaanyi ezitali ku mutindo abaleetedde omutindo okusereba.
Ono agambye nti baakutalaaga amatundiro gonna mu disitulikiti era anaasangibwa waakuggalibwa ng'ekikwekweto si kyakutaliza n'abatunda eddagala ly'ebirime enjingirire.
Okwogera bino abadde ayanukula abalimi mu kitundu kino abalaajanye ku mmotoka ezitambuza endokwa z'emmwaanyi enjingirire nga bano baabadde mu nsisinkano eya buli mwaka ku ofiisi y'ekibiina ekibagatta ekya Ssembabule District Farmers Association (SEDFA) ezisangibwa mu tawuni kkanso e Sembabule.
Godfrey Bitakalamire, akulira ekibiina kino alabudde abantu okuba abeegendereza n'abasaba okugula endokwa mu bifo ebituufu ebimanyiddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku mmwaanyi ekya USDA era n'asaba ne disitulikiti okubakwasizaako okulaba nga bamalawo ekizibu kino.