Abawala 3 abeekalakaasiza ku Palamenti nga bali bukunya bayimbuddwa

Abawala abasatu abaatambula nga bali bukunya kkooti kyaddaaki ebayimbudde ku kakalu kaayo ka kakadde kamu akatali kaabuliwo.

Abawala 3 abeekalakaasiza ku Palamenti nga bali bukunya bayimbuddwa
By Harriet Nakalema
Journalists @New Vision
#Amawulire #Palamenti #Kuyimbula #Norah Kabosingye # Praise Aloikini Opoloje ne Kemitooma Kyenzibo

Abawala abasatu abaatambula nga bali bukunya kkooti kyaddaaki ebayimbudde ku kakalu kaayo ka kakadde kamu akatali kaabuliwo.

Bano okuli Norah Kabosingye , Praise Aloikini Opoloje ne Kemitooma Kyenzibo bavunaanibwa omusango gw’okweyisa nga ekitagasa mu lujjudde bwe beeyambula engoye ne batambula ku luguudo lwa Parliamentary Avenue nga September 2, 2024.

Nyanjura Ng'ayogerako Eri Abamaawulire.

Nyanjura Ng'ayogerako Eri Abamaawulire.

Abawala bano okukwatibwa kyaddirira okweyambula ne batambula nga boolekera palamenti nga beekalakaasa olw’olubuli bw’enguzi nga baagala sipiika wa palamenti Anita Annet Amongo okulekulira.

Eggulo ku Lwokuna baaleeteddwa mu kkooti okusaba okweyimirirwa era nga abamu ku baabeeyimiridde kwabaddeko Polof Sylvia Tamale, Dr. Kabumba Busingye nga musomesa wa mateeka e Makerere  n'abalala.

Oludda oluwaabi lusabye kkooti okuteekawo obukwakkulizo obukakali ku bavunaanibwa okulaba nga tebaddamu bikolwa byakikula kityo.

 

Omulamuzi Ronald Kayizzi akkirizza okusaba kwabwe n’abayimbula ku kakalu ka kkooti ka akakadde kamu akatali kaabuliwo ate abaamweyimiridde obukadde 2 obutali bwa buliwo. Ye amyuka loodi mmeeya wa Kampala Doreen Nyanjura asabye abakyala  bonna okuvaayo okwetaba mu kulwanirira eggwanga kuba teri kisinga kwekalakaasa kwa mirembe. Omusango gwakuddamu okuwulirwa nga October 1, 2024.