Engeri etteeka lya UPDF eppya gye likwata ku muntu wa bulijjo

PALAMENTI yayisizza enongoosereza mu tteeka erifuga amagye erya UPDF (Amendment) Act 2025 mwe baatadde akawaayiro akakkiriza abantu babulijjo okuwozesebwa mu kkooti z’amagye, ekintu ekyali kiwereddwa Kkooti Ensukkulumu mu January w’omwaka guno.

Minisita Oboth Oboth (ku kkono), ssentebe w'akakiiko k'amateeka mu Palamenti, Stephen Bakka Mugabi ne Ssaabawolereza Kiryowa Kiwanuka nga baliko bye beetegereza mu tteeka.
NewVision Reporter
@NewVision

PALAMENTI yayisizza enongoosereza mu tteeka erifuga amagye erya UPDF (Amendment) Act 2025 mwe baatadde akawaayiro akakkiriza abantu ba
bulijjo okuwozesebwa mu kkooti z’amagye, ekintu ekyali kiwereddwa Kkooti Ensukkulumu mu January w’omwaka guno.
Bukedde ataganjudde etteeka n’akulaga obumu ku buwaayiro obwabaddeko okusika omuguwa nga baliyisa naddala engeri gye likwata ku muntu walijjo. Etteeka lye baakozeeko ennongoosereza erya UPDF Act lyakolebwa mu 2005 nga
baamba nti, libadde terituukana na mbeera eri mu ggwanga kuba teryogera ku bintu nga eggye erikuuma Pulezidenti erya SFC.
Etteeka lyazzizzaawo kkooti y’Amagye ejja okuvunaanyizibwa okuwozesa abakwatammundu abasiiwuuka empisa ne beenyigira mu bumenyi bw’amateeka.
Ng’oggyeeko abaserikale, waliwo abantu baabulijjo abajja okuvunaanibwa mu kkooti
y’Amagye singa:
l Omuntu asangibwa nga yakolaganye n’ebitongole by'ebyokwerinda mu kukola ebikwekweto ebimenya amateeka mu kifo kyonna.
l Singa omuntu akwatibwa ng’alina eky'okulwanyisa mu bukyamu ekimanyiddwa nti, kikwatibwa ebitongole ebikuumaddembe.
l Singa omuntu ayambako omukuumaddembe mu kuzza emisango okuli; ettemu, obubbi,
okuwamba n’ekigendererwa ky’okutta oba okwenyigira mu bikolwa by’okulya mu nsi olukwe.
l Omuntu ayambadde, atunda ebyambalo by’ebitongole ebikuumaddembe oba ebibyefaanaanyiriza. l Ebimu ku bintu ebimanyiddwa nti, bya bitongole ebikuumaddembe kuliko; engatto, helmet, ebyambalo bya kiragala ebyambalwa eggye ezzibizi, ennyota, essaati emmyuufu okuli emiyondo.
l Obukoofiira nabwo bwawereddwa obuli mu langi ezeefaanaanyiriza emmyuufu eyeefanaanyiriza eya miritale, eza langi ya grey efaanana ey’eggye ly’omu bbanga,
bbulu omukwafu ayambalwa eggye ly’oku mazzi n’endala.
l Engatto ezaagaaniddwa kuliko; Jungle Boot, gambuutusi eza kiragala w'amagye, Ranger Boot enzirugavu, Angle Boot enzirugavu.
KKOOTI Z'AMAGYE ZONGEDDWAaMU OBUKWAKKULIZO
l Kkooti etandikirwako eya Unit Court Martial ejja kukulirwa omuserikale atasukka ddaala lya Captain. Ssentebe alina okuba ne diguli mu by'amateeka ne dipulooma emukkiriza okuwoza emisango mu kkooti.
l Ssentebe wa kkooti ajja kulondebwanga lukiiko lwa High Command nga beebuuza ku lukiiko olulonda Abalamuzi olwa Judicial Service Commission. Ekisanja kya Ssentebe kijja kuba kya myaka 3 kyokka nga kisobola okuzzibwa obuggya.
l Avunaanibwa omusango bw'aba ng’ali waggulu w’eddaala okusinga Ssentebe wa kkooti, bamutwala mu kkooti ekubirizibwa Ssentebe w'eddaala ly’erimu oba erisingawo.
l Omuntu asingisibwa omusango unit court martial, wa ddembe okujulira mu General Court Martial. l Waggulu wa unit court martial wajja kubaayo division court martial, ng'ekubirizibwa omujaasi ali ku ddaala eritakka wansi wa
Lieutenant Colonel. l Kkooti enkulu eya General Court Martial, yaakukulirwanga omulamuzi ali ku ddaala lya kkooti enkulu nga tajja kuba wansi wa ddaala lya Brigadier.
l Kkooti ejulirwamu eya Court of Appeal y’ejja okusembayo ku misango gyonna egijulirwamu.

Login to begin your journey to our premium content