ENDONGO y'okumalako omwaka 2025 n'okwaniriza omuggya 2026 e Masuliita yategekeddwa mu kkubo wakati mu nkulungo ya tawuni ye Masuliita mu disitulikiti ye Wakiso.

Lord Fred Ssebatta ng'ali ku stage
Omuteesiteesi omukulu mu ofiisi ya Pulezidenti, Haaj Yunus Kakande yeyategese endongo okuddiza ku bantu be Masuliita olw'okuwagira Gavumenti omwaka gwonna n'okwebaza Katonda abayisizza mumwaka nga balamu.
Abayimbi okuli Mohammed Ssendegeya, Sharif Lukenge, Fred Ssebatta n'abalala baasanyusizza abantu nga kunow kwotadde bakazannyirizi abaacamudde abantu wakati mundongo eyabadde esindogoma ngeva mu ggulu.

Munnakatemba ng'asanyusa abantu
Ku ssaawa 6;oo ez'ekiro, waabaddewo okutulisa ebiriroriro mubbanga okumala eddakiika 5 ng'akabonero ak'okwaniriza omwaka 2026 mumirembe era kino caacamudde nnyo abadigize abaabadde mundongo.

Muwada Namwanja omu ku baategese endongo
Haaj Kakande mu bubaka bwe obwaamusomeddwa ssentebe w'abaana babalwanyi Muwada Namwanja, yasabye bannamasuliita okukuuma emirembe naddala nga batuuse mukiseera ky'okulonda era nabakutira okuwagira enteekateeka za Gavumenti ezikulakulanya.

Abantu nga bayingira omwaka
Eyesimbyewo kukifo kya Busiro North ku kaadi ya NRM, Moses Mayanja yayizayozezza nnyo bannamasuliita olw'okuyita mu mwaka obulungi wadde waliwo abafuniddemu okusomoozebwa ssaako naabo abaafudde.
Yeyambye okutambulira ewamu nabo ssaako okubasakira pulojekiti ezikulakulanya era nabasaba okulonda buli wa NRM kubuli kifo olwo bye basaba Pulezidenti Museveni bibatukeko nga tewali muziziko gubutataganyizza.