Amawulire

Ab'ekibiina kya NRM Youth High Command batongozza kampeyini y'okuyiggira Mzee akalulu nnyumba ku nnyumba

ABAVUBUKA abegattira mu kibiina kya  NRM Youth High Command batongozza kawefube w’okunoonyeza pulezidenti Museveni akalulu nga bava nju kunju   ekinasobozesa okukuyega abantu basobole okumuyiira obululu .   

Brian Okidi ng'atongoza enkola y'okunonyeza Mzee akalulu nju ku nju
By: Sarah Zawedde, Journalists @New Vision

ABAVUBUKA abegattira mu kibiina kya  NRM Youth High Command batongozza kawefube w’okunoonyeza pulezidenti Museveni akalulu nga bava nju kunju   ekinasobozesa okukuyega abantu basobole okumuyiira obululu .

Brian Olala Okidi ng'ayambaza Juma Tinyefuza omudaali

Brian Olala Okidi ng'ayambaza Juma Tinyefuza omudaali

Abavubuka bano ababadde batambulira ku mulamwa  ogugamba “okusitula eddoobozi ly’omuvubuka mu bantu babulijjo “  batambudde okweettolola  enguudo za Kampala nga bagenda bakuyega abantu okulonda Museveni mu kulonda okujja  .

Abamu ku bammemba b'ekibiina nga batambula ku nguuzo z'omukampala okunoonyeza Mzee akalulu

Abamu ku bammemba b'ekibiina nga batambula ku nguuzo z'omukampala okunoonyeza Mzee akalulu

Basimbudde ku luguudo lwa  Kafumbe Mukasa ne bayita ku  takisi paaka empya , Katale ka Kisekka  , Kampala road  nga bawerekerwako  bbandi oluvannyuma ne bakunganira ku somero lya  Nakivubu Settlement. Ku mukolo gwe gumu bajjukidde  omwoyo  gwa munnabwe  Ibrahim Ssewanyana  omu ku batandikawo ekibiina kino emyaka 15 egiyise gwe batendereza nti yali mjuzira wabwe .  

Okidi ng'ayambaza omudaali

Okidi ng'ayambaza omudaali

Ssentebe we kibiina kino Juma Tinyefuza yagambye Pulezidenti Museveni ye patulooni waabwe eyabeyungako emyaka 10 egiyise  nga bulijjo babadde bamunoonyeza obululu obwawamu naye ku luno   basazzewo kanoonya   nju ku nju basobole okusaggula bonna ababadde bakyasigalidde nga babatukako buterevu  okubalaga  ebirungi  ebireteddwa Museveni ne gavunenti.

Yayongeddeko nti  nti ekigendererwa kye kibbiina kino kwe  kukunga abavubuka okufuna bye bakola  , okwagala ensi yabwe n’okunoonyeza ekibiina ekiri mu buyinza obululu .

“Tewali ngeri gyetusobola   kunoonyezamu bavubuka mirimu nga tetuli  kumpi n’akinyusi  ekivaamu ebibala   ebitukulakkulanya . Era tulinakola ne pulezidenti wamu ne bammemba ba NRM abagenda okukikirira ebitundu ebyenjawulo “ Tinyefuza bweyagambye  

Nga bakwasa mutabani wa Brian Sewannyana certificate

Nga bakwasa mutabani wa Brian Sewannyana certificate

Brian Olala Okidi nga ye yakikiridde  Hajat Amiinah Mukalazi avunanyizibwa ku mutindo gwe bikolebwa mu ggwanga okuva mu offisi ya pulezidenti   yasabye abavubuka  okufaayo okukuuma ebitukiddwako gavumenti lwe bajja okugaanyulwamu .

Yayongeddeko nti gavumenti etandiisewo amakolero mangi ag’afulumya ebintu ebyenjawulo ebiri ku mutindo ogw’aggulu ddala ebivuganya  ku katale kawaano ne bweru we ggwanga  .

Yayongeddeko nti kino kiyambyeko okukendeza ku bbula  lye mirimu kubanga abavubuka bangi bagenze bafuna eby’okukola mu makolero gano

Ba sheikh nga basabira omwoyo gw'omugenzi Ibrahim SSewannyana

Ba sheikh nga basabira omwoyo gw'omugenzi Ibrahim SSewannyana

Ku mukolo guno bagabidde abakulembeze abenjawulo n’abayambyeko High Command okulakulana emiddali ne satifiketi okubebaza bye bakoleredde ekibiina okulakulana

Abayimbi abenjawulo abavudde mu Ghetto bayoleseza ebitone nga basanyusa abantu era bagabudde abantu eby’okulya n’okunywa  

Omukolo guno gwetabiddwako bannabyafuzi abeesimbyewo ku bifo ebyenjawulo mu Kampala omwabadde eyagala ekifo kya maeeya wa Kampala Kizito Nsubuga , ekya Kawempe Farouk Bulime  nabalala

Tags: