Abantu ba Ssaabasajja beeyiye mu Lubiri e Mmengo, wakati mu kusanyusibwa abayimbi nga beetegekera okuyingira mu mwaka omuggya, 2026.
Okwawukanako n'ebikujjuko ebizze bibaawo, abakuumaddembe balemesezza abamu ku bantu ababadde n'ebintu ebyekuusa ku langi z'ebyobufuzi omuli; manvuuli, n'emijoozi, okuyingira nabyo mu Lubiri.

Abantu nga batandise okuyingira enkuuka