OMUSANA gwa kusigala nga gwaka mu masekkati ga Uganda okutuusa ku nkomerero ya July.
Bino byalangiriddwa ekitongole ky’eby’enteebereza y’obudde mu Uganda nti ebbugumu n’omusana bya kusigalawo mu masekkati okumala emyezi ng’ebiri ate mu bukiikakkono bwa Uganda wabeereyo enkuba.
Akola ng’akulira ekitongole kya Uganda National Meteorological Authority (UNMA), Milton Michael Waiswa bwe yabadde ayanja enteebereza y’obudde eya June, July ne August (JJA) yagambye nti ebitundu by’amasekkati ebyetoolodde ennyanja Nalubaale bya kusigala nga bikalu nga bisuubirwa okufunayo enkuba ey’olumagga- magga ku nkomerero ya July.
Ng’ayogerako eri bannamawulire eggulo ku Media Centre mu Kampala, Waiswa yagumizza Bannayuganda obuteeraliikirira olw’ebbugumu eribeera mu mayumba gaabwe ekiro kubanga lya bulijjo erizze libaawo mu myaka egimu nga lijja kuggwaawo mpolampola ng’enkuba ezzeemu okutonnya.
Yawadde abalimi amagezi okukungula ebirime byabwe mu budde buno kibayambe obutafiirwa ng’ekiseera ky’enkuba kituuse.