Togenda kumala gandekawo nga ggwe wanzaalamu abaana n'onkaddiya!! - omukazi akalidde mu bba eyanobye

Maama atabuse bw'atuuse awaka n'asanga nga bba yapakidde engoye ze mu kaveera n'anoba, maama alayidde nti kikafuuwe omusajja ono okumusuulawo aleke nga amukaddiyizza.

Togenda kumala gandekawo nga ggwe wanzaalamu abaana n'onkaddiya!! - omukazi akalidde mu bba eyanobye
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Kayunga #Maka #Mukazi #Mukwano #Migugu

Maama atabuse bw'atuuse awaka n'asanga nga bba yapakidde engoye ze mu kaveera n'anoba, maama alayidde nti kikafuuwe omusajja ono okumusuulawo aleke nga amukaddiyizza.

Kato Eyanobye.

Kato Eyanobye.

Omukazi agenze ku ofiisi y'amaka, abaana n'eddembe ly'obuntu e Kayunga ekulirwa Collins Kafeero n'aloopa nga agamba nti tayinza kuleka musajja amukaddiyizza nga kati yenna akanduse, era ayagala ab'amateeka bakalire mu musajja addeyo mu maka.

Cissy Nantege 48, yatabuse olwa bba Kato David 55, okusibamu ebibye n'anoba era nga bano bamaze emyaka 30 mu bufumbo ne bazaala abaana babiri.

Nantege ewa Kafeero awerekeddwa mutabani we Migadde Abdu era ono naye obwedda awera  obutaganya kitaabwe okumala gasuulawo nnyaabwe kubanga ku myaka gy'aliko si kyangu kufuna musajja anaamuwasa.

Abafumbo bano balina amaka e Kisawo mu Kayunga mwe baasookera Kato ge yazimba ku ttaka ly'ekika wabula oluvannyuma Nantege bwe yagaba omugabo gwe ewa kitaawe yagutunda ne bagatta ssente ne bba ne bazimba enyumba endala endala e Mukono gye babadde babeera ekiseera ekinene.

Nantege Alemeddeko.

Nantege Alemeddeko.

Kafeero ayise Kato n'ajja era n'abatuuza okubabuulirira ku ntambuza y'obufumbo.

Kato agamba nti ekyamunobezza Nantege aliko abasajja b'apepeya nabo ng’agenze okusuubula engoye era nga lwe yasibye emigugu waliwo omukazi yalwayo nnyo ate ne wabaawo omusajja eyakubira Kato essimu ne yeewana nti y'abadde ne Nantege era ensonga Kato yazitwala ku poliisi e Kayunga.

Nantege agambye nti bba amuwaayiriza era nti ye yagumira buli kimu nga n'abakazi abapya Kato baawasa okuzza, Nantege y'abagulira engoye.

Kato agambye nti tajja kusitula migugu kugyeddizaayo wabula Nantege agende mu nyumba yaabwe ey'e Kisawo mu Kayunga asitule emigugu agizze e Mukono awo Kato naye agoberere.

 

Kafeero abuuliridde abafumbo n'asaba Kato ave ku kuwuliriza eng'ambo atebenkere ne mukazi we.

Kafeero ajjukizza Kato nti ssinga ensonga zeeyongerayo mu kooti ne kizuulibwa nga omusiguze taliiyo ensonga zisobola okwekyusiza Kato ate n'anyigirizibwa n'abalagira okudda mu bbanga lya wiiki emu nga buli omu amaze okwerowooza eyasobya yeetondere gwe yasobya.