Nga yeebaza Katonda olw’okumusimattusa abazigu abaamuzinduukiriza ne basindirira emmotoka mwe yali atambulira bamale batte muwalawe Brenda Nantongo ne ddereeva we olwo ye n’asimattuka n’ebisago, Gen. Edward Katumba Wamala azimbye ekkanisa gaalikwoleka eya St. Mark Kikandwa esangibwa mu Kasawo TC mu disitulikiti y’e Mukono.
Ekkanisa eno egguddwawo Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu ng’ayambibwako omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo n’omulabirizi wa Central Buganda eyawummula, Jackson Matovu n’aabaweereza b’ekkanisa abalala mu bulaabirizi bw’e Mukono.
Kkanisa eno Ssaabalabirizi Kazimba yagitemera evvuunike nga June 4, 2022, nga mikwano gya Gen. Katumba gyasitukiramu okusonda ensimbi z'okugizimba.
Ekkanisa ey'omulembe eya St. Mark Kikandwa eyazimbiddwa Gen. Edward Katumba Wamala.
Oluvannyuma lw’okugiggulawo ku Ssande, Gen. Katumba yategeezezza nti eno kkanisa ya bantu sso si yiye n’aba ffamire ye.
“Mbaddenga mpulira aba ttakisi nga bagamba nti ku kkanisa ya Gen. Katumba, ekyo si kituufu, eno kkanisa ya St. Mark Kikandwa ya bantu ba mu kitundu. Ntera okuwulira ng’abaana n’abazzukulu olumu bagolokoka ne bagoba ekkanisa ku ttaka nga bagamba nti kitange oba jjajjange ye yagizimba, abange ekyo temukikolanga, eno ekkanisa si yange wadde ffamire yange, ya bantu,” bwe yategeezezza.
Ono yakubirizza Bannayuganda okuli n’abaana n’abavubuka okukula nga beetowaze n’agamba nti ye kyakulabirako kirungi kuba talina muntu mu gavumenti yamukwatako naye yeerandiza yekka okutuuka w’atuuse.
Okuva ku kkono; Catherine Nantongo Wamala mukulu wa Gen. Edward Katumba Wamala (wakati) ne mukyala wa Gen. Katumba mu kyenvu nga bali mu kusaba kw'okuggulawo ekkanisa ya St. Mark Kikandwa Katumba gye yazimbye.
Ng'abuulira, Ssaabalabirizi yasiimye Gen. Katumba olw'okuzimba kkanisa ey'omulembe bweti ku kyalo kw'azaalibwa n'agamba nti ono kino kye yakola olw'okusiima Katonda eyamusimattusa okufa. Ono era yasiimye Katonda olw'okulekawo Gen. Katumba agende mu maaso n'okumuweereza.
"Abantu abamu Katonda abaleseewo olw'ekigendererwa naye temukozesezza mukisa ogwo, kye kiseera mwekube mu kifuba, bw'oba obadde tolokokanga, gira olokoke kuba tomanya, eyo eyinza okuba nga y'ensonga ekulesezzaawo, n'olw'ekyo tolwawo kuba tomanyi ddi lw'anaakuddukira," bw'ategeezezza.
Yasabidde bazadde ba Gen. Katumba omukisa okuli nnyina Dorothy Wamala ne taata Henry Wamala olw'okuzaala omwana atuuse omukisa eri Uganda n'agamba nti bano wadde baafa, bakyali balamu olw'omwana waabwe ono.
"Kyannaku nti eriyo abazadde abazaala abaana nga bakyali na balamu naye ng'onyinza okulowooza nti baafa, kyokka ate abamu nga baafa naye ng'ate balamu nga bwe guli ku ba Wamala," bwe yagambye.
Ssaabalabirizi Kazimba, Gen. Katumba n'emikwano nga basala kkeeki oluvannyuma lw'okuggulawo ekkanisa ya St. Mark Kikandwa Gen. Katumba gye yazimbye.
Ssaabalabirizi era yennyamidde n'agamba nti wadde amakanisa nga gano mangi gazimbiddwa eky'ennaku abagasabiramu bbo batono nnyo, naye ng'ate Abakulisitaayo bangi. Yasabidde n'omugenzi Nantongo eyafa amasasi ne ddereeva wa Gen. Katumba abazigu bwe baabalumba ne babakuba amasasi olwo ye Gen. Katumba Katonda n'amubikkako obusubi n'asobola okusimattuka.
Gen. Katumba omukolo guno agwetabyeko n'aba ffamire ye bonna, mikwano gye omuli abali mu magye, abakulembeze omuli ababaka ba palamenti n'abakulembeze b'eddiini ab'enzikiriza ez'enjawulo.
Mu bamu ku beetabye mu kusaba kuno, ye Canon Moses Bbanja ne mukyalawe Prof. Canon Olivia Bbanja omulabirizi omulonde ow’e Namirembe. Ng’okusaba kugenda mu maaso, Ssaabalabirizi yalabiddwa ng’akuba Canon Bbanja akaama ne boogeramu era ne baseka mu ngeri y’okumukulisa olutabaalo.
Eyaliko omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda, Nelson Kawalya naye yabaddewo wabula nga Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku mbiri, amasiro, eby’obuwangwa n’eby’okwerinda, Anthony Wamala yasiimye Gen. Katumba olw’obuweereza obulungi ate n’okubeera omwetowaze.
Gaster Lule Ntakke nga y’abadde akuliddemu omulimu gw’okuzimba yayanjulidde abantu omulimu nga bwe gubadde kyokka n’alaga okunyolwa ng’agamba nti wadde ekkanisa ezimbiddwa nga nnene bulungi, bbo Abakulisitaayo abasabiramu bakyali batono nnyo. Yategeezezza nti n’ennyumba y’omusumba w’ekkanisa eno nayo eriwo tetuukana na mutindo gwa kkanisa yazimbiddwa n’asaba wabeerewo ekikolebwa mu bwangu.