Amawulire

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo kyagala obuwumbi 10

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bisolo by’omu nsiko mu ggwanga kisabye Palamenti obuwumbi kkumi mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja okugula ennyonyi eneekozesebwa okulawuna amakuumiro g’ebisolo.

Dorcus Rukundo ng’annyonnyola akakiiko ka Palamenti.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bisolo by’omu nsiko mu ggwanga kisabye Palamenti obuwumbi kkumi mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja okugula ennyonyi eneekozesebwa okulawuna amakuumiro g’ebisolo.
Okusaba kuno kwakoleddwa kaminsona w’ebyobulambuzi, Dorcus Rukundo Twesigomwe mu nsisinkano ye n’ababaka ku kakiiko akalondoola ebyamaguzi n’obulambuzi.
Yagambye nti, ennyonyi ejja kutaasa ensolo ku bayizzi abazitigomya. Agamba nti ejja kulawuna amakuumiro okuli Queen Elizabeth National Park, Murchison Falls, n’amalala nga yaakutambuliramu n’abasawo abajjanjaba ensolo zino.
Agattako nti, abayizzi bagufudde mugano okuyigga enjovu nga bwe balemererwa waakiri baleka bazitaddeko obuvune. Yagambye nti ennyonyi eno, ejja kubanguyiza omulimu gw’okubala ebisolo ogukolebwa buli mwaka mu makuumiro ag’enjawulo.
Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Martin Mugarra Bahinduka yategeezezza nti eggwanga lyetaaga ennyonyi eno kubanga ekitongole kikooye okwesigama ku ggye lya UPDF.
Yawadde ekyokulabirako nti, amawanga amalala agalina amakuumiro g’ebisolo, galina ennyonyi ezirawuna ne bamanya wonna awaba wagudde akabi.
Ababaka ku kakiiko kano okwabadde David Kalwanga (Busujju), Richard Gafabusa (Bwamba) n’abalala beewuunyizza ne babuuza nti, emyaka gy’ebyensimbi musanvu egiyise ekitongole kino kizze kisaba ssente z’ennyonnyi nga zikiweebwa naye tebamanyi kiddirira

Tags: