Amawulire

Enjatika mu luguudo zikanze minisita

MINISITULE y’ebyenguudo n’entambula egenda kweyambisa abakugu okunoonyereza ku kyavuddeko oluguudo mu bitundu awagenda okusimibwa amafuta okuliraana ennyanja Muttanzige okufuna enjatika empavu.

Lin gaamumyuse
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MINISITULE y’ebyenguudo n’entambula egenda kweyambisa abakugu okunoonyereza ku kyavuddeko oluguudo mu bitundu awagenda okusimibwa amafuta okuliraana ennyanja Muttanzige okufuna enjatika empavu.
Oluguudo luno oluva e Hoima- Tonya – Kaiso ekitundu kyalwo ekimu ng’onootera okutuuka ku nnyanja Albert lwafunye enjatika ez’amaanyi.
Minisita w’ebyenguudo n’entambula, Gen. Katumba Wamala ng’ali n’abakugu mu byenguudo, yalambudde oluguudo luno n’agamba nti kirabika musisi yayise n’alwonoona. Agamba nti agenda kweyambisa abakugu okukakasa ekyayonoonye oluguudo, nga tebannaddamu kuluddaabiriza. Oluguudo luno lwe lumu ku z’enkizo mu kitundu awagenda okusimibwa amafuta era baaluyiwa kkoolaasi omulundi ogusooka mu 2012 nga lwakolebwa kkampuni ya Colin okuva e Turkey.
Ng’oggyeeko ekitundu omuli enjatika, waliwo awalala awaafuye ebigulumu omuli ebikko.
Gen. Katumba ku Lwokutaano yalambudde enguudo ez’enkizo mu kitundu kya Bunyoro, awagenda okusimibwa amafuta nga kkampuni ezizikola, ezimu zibadde zibanja gavumenti wabula zaasasuddwa

Tags: