Eddwaliro lya Kasangati Health Centre IV ebitanda okuzaalira abakyala bikyalyekubya mpi!

Bwotuuka ku ddwaliro lino ku ludda abakyala gye banywera eddagala n'okuzaalira ekikwaniriza gwe mujjuzo gw'abakyala abembuto abettanira ennyo eddwaliro lino.

Eddwaliro lya Kasangati Health Centre IV ebitanda okuzaalira abakyala bikyalyekubya mpi!
NewVision Reporter
@NewVision

Kyoka newankubadde ng'ebikozesebwa ku ddwaliro lino ebisinga okukola ku bakyala okuva lw'atandika okunywa eddagala okutuuka lw'asumulukuka  weebiri kyokka abasawo sako n'ab'embuto basanga okusoomoozebwa olw'ebbula ly'ebitanda okuzaalirwa naddala.

Omuwendo gw'abakyala ababa balinze okusumulukuka gusinga ogw'ebitanda era embeera eno oluusi eviirako abakyala ababa batuuse okusindika omwana okulwala ekirwadde kya Fisitula lwa kulwawo kubakolako.

Abasawo n'abalwadde basaba Gavumenti eyambe eyongere ku bungi bw'ebitanda.

Ebimu ku bitanda

Ebimu ku bitanda

Login to begin your journey to our premium content