Eddie Mutwe bamukomezzaawo leero mu kkooti

2 hours ago

OMUKUUMI wa Bobi wine Edward Ssebufu amanyiddwa ennyo nga Eddy Mutwe aleeteddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ento e Masaka, Abdallah Kayiza olwaleero okusomebwa emisango egyamusindisa mu nkomyo gyebuvuddeko.

Eddie Mutwe ng'ali mu kkooti e Masaka
NewVision Reporter
@NewVision

OMUKUUMI wa Bobi wine Edward Ssebufu amanyiddwa ennyo nga Eddy Mutwe aleeteddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ento e Masaka, Abdallah Kayiza olwaleero okusomebwa emisango egyamusindisa mu nkomyo gyebuvuddeko.

Omuwaabi wa Gavumenti Micheal Wakosesa ategeezezza kkooti eno nti beetegefu okugenda mu maaso n'omusango guno. 

Maama wa Eddie Mutwe ne Nina Roz nga bali mu kkooti

Maama wa Eddie Mutwe ne Nina Roz nga bali mu kkooti

Kyoka balooya be nga bakulembeddwamu Samuel Muyizi basabye  omusango guno asooke agwongereyo kuba omuwawaabirwa tali mu mbeera nnungi eyobulamu wabula asooke amuwe olukusa okugenda ajjanjabwe.

Oluvanyuma lw'okuwuliriza enjuyi zombi omulamuzi Kayizi asazeewo kkooti ewumulemu paka ku ssaawa Munaana akomewo awe ensala ku okusaba lwa balooya ba Eddy Mutwe

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.