Eby’omuwala eyakubiddwa ekipande ky’oku kkubo e Nansana

3rd October 2023

EMIRANGA n’okwaziirana bibuutidde ffamire n’abatuuze b’e Namayumba nga bakungubagira Mildred Najjemba, eyafudde oluvannyuma lw’ekipande okukuba emmotoka mwe yabadde atudde nga yeggamye enkuba ku poliisi y’oku Lubigi e Nansana ku lw’e Hoima.

Mildred Najjemba.jpg
NewVision Reporter
@NewVision
#eyakubiddwa #ekipande #Nansana
165 views

Bya Joanita Nangonzi

EMIRANGA n’okwaziirana bibuutidde ffamire n’abatuuze b’e Namayumba nga bakungubagira Mildred Najjemba, eyafudde oluvannyuma lw’ekipande okukuba emmotoka mwe yabadde atudde nga yeggamye enkuba ku poliisi y’oku Lubigi e Nansana ku lw’e Hoima.

Omugenzi Najjemba 17, muwala wa Justine Nampeera atundira ebintu ku kkubo okumpi ne poliisi y’oku Lubigi era nga yabadde asoma bya nviiri mu saluuni emu e Nansana ku makya ate akawungeezi n’ayambako nnyini okutunda ebintu ebyenjawulo bye babadde batundira ku kkubo ku Lubigi okumpi ne poliisi ku lwe Hoima.

Ekipande Ekyakubye Emmotoka Najjemba Mwe Yabadde N'afiiramu.

Ekipande Ekyakubye Emmotoka Najjemba Mwe Yabadde N'afiiramu.

Godfrey Kabenge, ssentebe wa Nabweru II yategeezezza nti ebipande bitaano (5) bye byagudde mu Nansana mwokka n’asaba be kikwatako okwegendereza omutindogw’ebipande ebyo babyekebejjenga bireme okutuusa obulabe ku bantu.

Isaac Keith, omu ku baabadde mu kifo kino yategeezezza nti ekipande kino si gwe mulundi ogwasoose okugwa era yavumiridde nnyo bannannyini kyo olw’obulagajjavu kuba bwe kyagwa ate bbo baafuba kukizzaawo mu kifo ky’okuteekawo ekipya.

Omulambo gwasoose kutwalibwa Mulago mu ddwaaliro oluvannyuma gwatwaliddwa e Namayumba ku biggya bya bajjajja be gye yaziikiddwa.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.