Omuyizi eyakubiddwa abasomesa embooka ezaamuviiriddeko okufuna amabwa ku butuuliro akwasizza abasomesa bana.
Abasomesa bana okuva kussomero lya St Victor SS erisangibwa ku kyalo Katara mu ggombolola y’e Kalungu mu disitulikiti y’e Buhweju bakwattidwa poliisi ne baggalirwa ku bigambibwa nti bakubye omuyizi wa S1 bubi nnyo nga kati anyiga biwundu mu ddwaaliro.
Omwana Ng'alaga Ebiwundu Bye Yafunye Oluvannyuma Lw'abasomesa Okumukuba.
Omuyizi Nagasha Maureen ye yakubiddwa oluvannyuma lw’okuteeberezebwa okubba ssente za muyizi munne.
Nagasha kati ali mu kufuna obujjanjabi ku ddwaliro lya Diisi medical Center e Bwizibwera - Kashari mu disitulikiti y’e Mbarara mu bulumi obw’amaanyi alombozze engeri abasomesa bwe baamukubye kirindi nga kwabaddeko n’akulira essomero lino ne ssentebe w’akakiiko ka PTA.
Nagasha agamba nti bano okumutimpula buli omu yabadde akuba w’alabye okuli empi, okumusamba emigere mu kifuba, ne kibooko ku butuuliro nga kati tasobola kutuula ka kube okweyamba yekka emmanju olw’ebiwundu bye yafunye.
Nagasha Eyakubiddwa.
Ono kyokka agamba nti n’omusango ogwamukubizza bamulanga bwemage nti era ye teyakutte ku ssente.
Omukulu w’essomero Kabagambe Benard yadde asambazze eky’abasomesa n’agamba nti baana banne be baamukubye, mukwano gwa Moreen gwe twasanze amujjanjaba, Catherine Ayesiga agambye nti ono yakubiddwa basomesa mu staffroom.
Abantu abaalabye omwana ono ng’aleetebwa ku ddwaaliro lino bavumiridde ekikolwa kino era ne basaba amasomero agalina enkola ng’eno gaggalwe era nti omwana abadde amaze ennaku nnya ng’akubiddwa kyokka essomero ne limukweka.
Martial Tumusiime, omwogezi wa polisi mu bitundu bya greater Bushenyi akakasizza okukwatibwa kw’abasomesa bano era n’avumirira eky’abantu okutwaliro amateeka mu ngalo.
Comments
No Comment