Ttulakita zisenze ekibanja ky'omukadde puleesa ne zimukuba

9th February 2025

Ttulakita ezaaleteddwa ne zisenda emmere ku kibanja ky’omukadde agamba asigadde mu bbanga nga n’ekyokulya akifuna mu bazirakisa.

Omukadde eyakubiddwa puleesa olwa tulakita okusenda ebirime bye
NewVision Reporter
@NewVision
27 views

Ttulakita ezaaleteddwa ne zisenda emmere ku kibanja ky’omukadde agamba asigadde mu bbanga nga n’ekyokulya akifuna mu bazirakisa.

          Omukadde agamba nti abaamusenze beeyise bannanyini ttaka era nga yasooka n’abawulira nga beeteesa nga bagamba nti aluddewo okufa ate nga ekibanja alina kinene.

          Safina Nabisubi 87, puleesa zaamukubye bweyalabye ttulakita nga zisenda ekibanja kw’amaze emyaka egisoba mu 60 era nga ye ne bba omugenzi Edward Kasolo,  ekibanja kyabawebwa ssezaala we Gabiiti.

          Omukadde Nabisubi awanjagidde minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba, abalwanirira ab’ebibanja nga bakulirwa Bob Paul Mpiima wamu ne pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ze ekibanja kye bakisuuze abanyazi.

Ekinagirize omwayise tulakita

Ekinagirize omwayise tulakita

          Ttulakita yakubyemu ekkubo, emiyembe, ovakedo, ebitooke n’emwanyi nabyo ne babisaawa era baatemyetemye obuwugiro ne babutunda nga kati n’amayumba gatandise okumeruka.

          Nabisubi agamba nti ekibanja kino okuli n’ebijja ku Bussezaala bwe kiriko yiika 13 n’ekitundu era nga kisangibwa ku kyalo Luggi mu muluka gw’e Lukwanga mu disitulikiti y’e Wakiso era nga abanyazi baasoose kwesalirako yiika ssatu kwezo yiika mwenda zebaagala.

          Ssentebe wa LC I ku kyalo Luggi hajj Kaziba Hamudan atubuulidde nti ekibanja kino kya mukadde Nabisubi era nga mwebaali babeera ne bba omugenzi Edward Kigozi eyafa mu 2004 n’agamba nti abatulugunya omukadde beeyita Balangira nti bebannanyini tta ate nga n’ekyapa tebakirina.

          Ku ssimu twogedde ne Mike Kanakulya ne Jonathan Kayondo Wasswa abeeyita bazzukulu ba Isaaya Muyiiya eyafa nga tazadde wabula ne beegaana nti ebyogerwa tebabimanyi.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.