EBY’OMUWALA eyafiiridde ew’omuli wa ssente, Bryan White biwanvuye, poliisi bw’eyazizza amaka ge n’esangamu amasabo n’ebintu ebizibu by’okunnyonnyola.
Mu kiseera kye kimu, bazadde b’omuwala eyafudde balayidde okulemera ku nsonga okutuusa nga bazudde kituufu ekyasse omwana waabwe.
Poliisi okwaza amaka ga Bryan White ng’amannya amatuufu ye Bryan Kirumira, agasangibwa ku Salaama Road mu ggombolola y’e Makindye mu Kampala,m kyaddiridde omuwala Caroline Nalubwama, 25 okugafiiramu.
Enfa ye na kati aba famire bakyagyemulugunyaako nga bye bimu ku bikulu poliisi
by’ekyanoonyerezaako.
Ensonda zigamba nti omuwala oyo eyasangiddwa ng’omulambo gwe guliko ebiwundu, abamu bagamba nti byavudde ku kapipa ka ggaasi akaatulise omulundi gumu omuliro ne gwokya abaabaddewo n’ebyabaddewo.
Zigattako nti, waliwo eyakoleezezza omusubbaawa ng’amasannyalaze gavuddeko nga tategedde nti, akapipa ka ggaasi kasumulule.
Ggaasi oyo nga y’omu ku bye baabadde bakozesa mu kufumba eby’awaka, yabadde teyasibiddwa bulungi ng’ayisa nga bw’olaba omupiira gw’eggaali oguyisa omukka. Nti bwe yakoleezezza, akapipa, kaakutte lumu omuliro.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agamba nti, ebyakazuulwa biraga nti omugenzi yabadde akoleezezza omusubbaawa ogwavuddeko omuliro.
Agattako nti omusubbaawa guno gwakoleezeddwa misana era yafiiridde mu ddwaaliro e
Kiruddu.
Ekyewuunyisa, Onyango agamba nti omuliro guno gwakutte misana era Nalubwama yafudde yaakatuusibwa mu ddwaaliro e Kiruddu ku ssaawa 8:00 ez’emisana ku Mmande.
BRYAN WHITE BY’AZZE AYITAMU
Omuli wa ssente ono tewali yamanya gye yafubutuka mu 2016 bwe yeggunda ku Bannayuganda abaamwekanga ng’alina ebisawo n’ebisawo bya ssente. Yakola ekibiina kya Bryan White Foundation mwe yayitanga okugabira abantu ssente naddala abavubuka be yakolangamu omulimu bave ku biragalalagala. Yakunga abayimbi b’amannya okwali Jose Chameleone, Weasel, Big Eye, King Micheal ne bannaabwe be yakozesanga okusikiriza abavubuka okukung’aana olwo ye n’abakuba enjiri y’okweyisa obulungi oluvannyuma n’abawa ssente z’entandikwa. Ng’omuyimbi Moze Radio eyali owa Good Lyfe afudde mu 2018, Bryan White yagenda mu maka ga nnyina, Jane Kasuba e Kagga –Nakawuka n’amusaba amukkirize azimbe entaana ye era n’akikola kwe yagatta okumaliriza ennyumba ya nnyina omuyimbi oyo gye yafa tamalirizza.
Abaabuuzanga gye yaggya ssente z’amansa ng’abaddamu bwe yalina maama we e Yitale gye yava era nga ye yazimuwa.
Kyokka mu 2021, Bryan White yaggulwako emisango akakiiko ka Palamenti ak’eddembe ly’obuntu aka ‘Human Rights Committee of Parliament’ ne kalagira asibwe ku misango gy’okukabassanya abawala kyokka nga ye agamba nti, alina abamuwalana abamusibako kalebule oyo. Abamu ku bawala abaali boogerwako kwaliko; Stella
Nandawula, Vivian Mutanda, Leticia Nabulime. Mu budde obwo, kyali kigambibwa nti mu kukolagana nabo mu kibiina kye yatondawo, waliwo ebitaagenda bulungi wakati we nabo.