EKIBINJA ky’Abakristaayo b’e Luweero kyekubidde enduulu eri Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu nga baagala okulonda kw’Omulabirizi wa Luweero owookuna okwaliwo ku ntandikwa y’omwezi guno kusazibwemu.
Olukiiko lw’Abalabirizi b’Ekkanisa ya Uganda olwatuula e Kisoro nga April 3, 2023 lwalonda Ssaabadinkoni w’e Ndejje, Can. Godfrey Kasana 52, okufuuka Omulabirizi w’e Luweero owookuna (4) ng’ekibadde kirindiddwa kwe kumutuuza nga July 16, 2023 adde mu bigere bya Bp. Eridard Nsubuga Kironde agenda okuwummula.
Kyokka nga waakayita ennaku 9 zokka ng’alondeddwa, ekibinja ky’Abakristaayo kyaddukidde ewa Kazimba nga kimusaba asazeemu okulondebwa kwa Kasana olwa kye bayita emivuyo egyali mu kusunsula abaali beesimbyewo.
Bano nga bakulembeddwa Keneth Kikabi, omu ku basabira ku Lutikko y’Obulabirizi bw’e Luweero eya St. Mark, baayise mu kiwandiiko Bukedde kye yafunyeeko kkopi kye baawandiise nga April 11, 2023 nga bagamba nti olukiiko Kasana mwe yasunsulibwa okuvuganya ku Bulabirizi lwalimu okusosola mu mawanga, okulimirira, okugaba enguzi, n’obutagoberera mateeka ga Kkanisa!
Baagala Ssaabalabirizi agoberere okusaba kwabwe kwe baasooka okukola, okw’okusattulula akakiiko akasunsuzi akakulirwa Cansala w’Obulabirizi, Apollo Makubuya wateekebwewo akapya ke bagamba nti ke kayinza okuteekawo okusunsula okw’amazima era okugoberera emitendera gy’Ekkanisa.
“Taata, Ssaabalabirizi, tumanyi ng’emivuyo gino gisobola okugonjoolwa nga tuyita mu mitendera egy’Ekkanisa yaffe, kyokka ssinga osirika n’otagigonjoola, tujja kukakibwa okuddukira mu kkooti z’ensi okulaba nga tufuna obwenkanya n’okukuuma ekitiibwa ky’Ekkanisa ya Uganda.’’
Bye bimu ku bigambo ebikomekkereza ebbaluwa eno, ofiisi ya Ssaabalabirizi gye yakakasizza nti yagifunye nga April 11, 2023.
Akakiiko akeemulugunyizibwako kaali kasoose kusunsula Can. Kasana ne Rev. Abel Sserwanja Merewooma (Omusumba w’e Kireka mu Bulabirizi bw’e Namirembe), naye Kikabi ne banne abasoba mu 350 ne bajulira eri Ssaabalabirizi ekyavaako okuwandulwa kwa Rev. Merewooma eyasikizibwa Rev. Abraham Muyinda, Viika wa Lutikko ya St. Paul Cathedral Namirembe nga Kasana gwe yawangudde mu kalulu akaakubiddwa Abalabirizi.
CAN KASANA KY’AGAMBA
Can. Kasana alinze okutuuzibwa ku Bulabirizi, yagambye nti ensonga eyo yagiwuliddeko buwulizi nti waliwo abaagala okulondebwa kwe kusazibwemu.
“Nze mmanyi nti Katonda ye yannonze ku kifo ky’Obulabirizi kino era y’alina obuyinza okukinzigyamu. Kale baddembe okugenda ne bawaayo okwemulugunya kwabwe, nze sibalinaako buzibu,” Can Kasana bwe yannyonnyodde.
KATONDA Y’ATUTUMYE OKUGOGOLA LUWEERO - KIKABI
Kikabi mu kwogerako ne Bukedde yagambye nti kye baagala okutereeza ky’eky’Ekkanisa okujjamu emize egiri mu nsi nga; enguzi, okusosola mu mawanga n’ebirala nga bo ab’omunda tebayinza kusirika nga babirabye kubanga biteeka ebiseera by’Ekkanisa eby’omu maaso mu matigga.
Bukedde bwe yatuukiridde Ssaabalabirizi Kazimba ku ssimu, yategeezezza nti ebbaluwa eyo tannagitunulamu olw’olusirika lw’olukiiko olutaba enzikiriza lw’alimu lwe yagambye nti lwa kuggwa olweggulo lwa leero, alyoke afune akadde akagyekenneenya.
Ate ye Can. Capt. William Ongeng, omuwandiisi w’Obussaabalabirizi bw’Ekkanisa ya Uganda yagambye nti amaze ennaku nga tali mu ofiisi. Bukedde bwe yagezezzaako okutuukirira Cansala w’Obulabiriz bw’e Luweero, Apollo Makubuya ku nnamba z’essimu ze ezimanyiddwa, naye nga tazikwata. Akakiiko akasunsula abalabirizi bano ke beemulugunyaako kaliko Cansala w’Obulabirizi - Makubuya, Rev. Can. Keith Muwanguzi, Rebecca Nalwanga (eyaliko omubaka omukazi owa Disitulikiti y’e Luweero), Amos Gitta, Can. Christopher Nkoyooyo n’abalala.