Amawulire

EBY’OMUGAGGA W’E MASAKA:Minisita Balaam abiyingiddemu, nnamwandu akyagugubye

MINISITA w’ebyabaana, Balaam Baruhagara ayingidde mu by’okuziika omugagga w’e Masaka ebikyalimu enkalu.

Ahamad Washaki, Richard Musajja Awaza n’aba ffamire nga balambula e Kyalusowe.Mu katono ye nnyina w’omugenzi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MINISITA w’ebyabaana, Balaam Baruhagara ayingidde mu by’okuziika omugagga w’e Masaka ebikyalimu enkalu.
Balaam atumye RCC w’e Masaka, Ahmed Washaki ewa nnamwandu omukulu ow’omugagga Bosco Ssenyonjo Bitanda okumumatiza akkirize okussa omukono ku kiwandiiko ekigendereddwa okukkaanyisa enjuyi zombi zikkirize okuziika bba n’abaana be babiri kyokka nnamwandu n’alema!
Washaki yasisinkanye maama n’aba ffamire n’oluvannyuma n’asisinkana nnamwandu omukulu Jane Nabukeera babeeko enzikiriziganya ze batuukako baleme kulinda lunaku kkooti lwe yabalagira okuddayo.
Yasookedde ku nnyumba y’e Mukungwe, omugenzi gy’abadde azimba olwo n’ayolekera e Kyalusowe gye yasisinkanidde Maria Norah Nakayiza nnyina w’omugenzi n’abaawaka. Ono yategeezezza nti yabadde afunye essimu okuva ewa Balaam era ne bayungako Nabukeera, eyakkaatirizza nti, amaka we baagala okuziika bba ekyapa tekiri mu mikono gyabwe wabula bwe kinaazuulibwa nti bakirinako obuyinza, waakukkiriza bba aziikibwe ku kiggya.
Washaki yagambye nti, Minisita okuyingira mu nsonga zino, Gavumenti ebadde eswala emirambo okulemera ku nsi ate nga kuliko ne musajjamukulu abadde ajjumbira n’okugikwasizaako ku nsonga ez’enjawulo. Ono yasabye aba ffamire okusigala nga bakkakkamu n’obutagenda mu maaso kuweebuula kitiibwa ky’abagenzi, bakkaanye.
KATIKKIRO W’EKIKA TATUDDE
Katikkiro w’Ekika ky’Ennyonyi Namungoona, Richard Musajja Awaza yasookedde mu Kkooti Enkulu e Masaka okutwalayo ffayiro, oluvannyuma ne yeegatta ku kulambula kwa Washaki era n’amwanjulira ebyabadde bizuuliddwa mu kulambula ebifo bino, n’amukwasa n’ekyapa ekyamuweereddwa aba ffamire ekibadde kikuumibwa Judith Nannyonga.
Katikkiro yategeezezza nti, ebbanga ly’amaze mu nsonga zino nnamwandu tagendangako mu ofiisi y’Ekika okusaba okuziika bba wabula yaddukira mu kkooti ng’ate bba abadde tasuulirira nsonga za Kika. Katikkiro yakkaatirizza nti, omugenzi talina we yaleka buwandiike ng’alaga okuziikibwa e Mukungwe.
Wadde Washaki yategeezezza nti, Nabukeera yabadde ku lukomo lw’essimu, mu kulambula e Mukungwe teyalabiseeko era baasanze ebibaati ebyetoolodde amaka gano kuliko kkufulu era ne bwe baagenze mu maka ge mu Kasana okubaga ekiwandiiko ku bituukiddwaako baatuuseeyo nga ggeeti nzigale era tebaamufunye.
Kitegeerekese nti engeri enteekateeka z’okukkaanya gye ziremye butaka, ffa

Tags: