Amawulire

EMISOLO EMIPYA:Gavumenti eyanjudde emisolo ku sukaali, amafuta, butto, seminti, tayiro, bbeetingi , omwenge...

GAVUMENTI etegese emisolo emikambwe gy’ereeta mu bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2026/2027, okusobola okwongera ku bungi bw’omusolo ogusoloozebwa.

Ebizimbisibwa nabyo byakwongerwako emisolo omuli ne sseminti.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

GAVUMENTI etegese emisolo emikambwe gy’ereeta mu bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2026/2027, okusobola okwongera ku bungi bw’omusolo ogusoloozebwa.
Okusinziira ku minisitule y’ebyensimbi, baagala okusolooza  obuwumbi 4,800 mu misolo emipya egireetebwa, bongere ku bungi bw’emisolo ekitongole kya URA gye kisolooza mu buli mwaka gwa byansimbi, okutuuka ku buwumbi 40,000.
Mu mwaka gw’ebyensimbi guno 2025/2026, URA yaweebwa ekkatala lya kusolooza obuwumbi 36,700 nga URA eyagala mu mwaka ogujja ebongereko obuwumbi 4,800 okuyita mu misolo.
EBINTU GAVUMENTI BY’EYAGALA OKUTEEKAKO EMISOLO
Gavumenti eteeseteese emisolo emipya ku mafuta, ssukaali, omwenge, seminti, ettaka, tayiro, emotoka, pikipiki, zzaala, n’emisaala gy’abakozi.
Emisolo gino minisita w’ebyensimbi essaawa yonna agenda kugireeta mu Palamenti ababaka bagikubaganyeeko ebirowoozo, era abakwatibwako emisolo gino mu bizinensi ez’enjawulo bagenda kuyitibwa baweeyo ebirowoozo byabwe ku misolo gino nga
Palamenti tennagiyisa. Ku buli liita y’amafuta aga Petulooli ne dizelo, gavumenti  eyagala okwongerako omusolo gwa nnusu 200, ng’eruubirira okukungaanya obuwumbi 450 mu mwaka omulamba.
Gavumenti egamba nti kino tekigenda kukosa byanfuna, kubanga ebbeeyi y’amafuta tegenda  kulinnya.
Abawuuta omwenge nabo Gavumenti ebakutteko, kubanga eyagala okuteeka omusolo gwa 3,500 ku buli liita y’omwenge nga waragi agulimu tasukka bitundu 0 ku 100. Wano kumpi buli munywi bagenda kumukwatako, kubanga kizibu okusanga omwenge ogusussa obuka bwa waragi ebitundu 60 ku 100. Ogusinga obuka ogusinga obungi ku katale guli wakati wa 40 ne 43. Bwe baavudde ku mwenge ne akwata ku ssukaali. Buli kkiro ya ssukaali Gavumenti ebaddeegisoloozaako 100/= kyokka, naye kati eyagala kwongeza etuuke ku nnusu 300/- buli kkiro. Okuva 2015 omusolo ku ssukaali gubadde
tegweyongera, wadde nga ye ssukaali abadde atera okulinnya ebbeeyi olw’ensonga endala eziba mu katale.
Tayiro ez’ekika kya Ceramic ne Porcelain nazo Gavumenti eyagala kuzongerako omusolo gwa nnusu 1,000/=, kw’ossa ekirungo kya Grout ekikozesebwa okusiba Tayiro, n’ekirungo kya Lime, nabyo Gavumenti by’eyagala okuteekako omusolo gwa 1,000/=.
Seminti akozesebwa mu kuzimba naye Gavumenti eyagala okumuteekako omusolo gwa 1,000/=. Abamutunda bagamba nti olumu akasente ke bafuna ku kasawo ekawera 1,000/-.
Butto akozesebwa okusiika eby’okulya naye Gavumenti eyagala okumussaako omusolo
gwa nnusu 400/=, buli liita era egenda kwongeramu amaanyi mu kugusolooza, kubanga wabaddewo amakampuni ageepena omusolo guno, nga butto ono gamuteekakn mannya amalala okugeza ne galaga nti butto avudde mu bimera, oba omuzigo gw’ebisolo, kubanga bakimanyi nti bino tebisasula musolo. Gavumenti era eyagala okulinnyisa omusolo gw’ebadde ejja ku bantu abatunda ettaka, okuva ku kitundu kimu n’obutundutundu butaano ku buli 100, okutuuka ku bitundu 3 ku buli 100 ku ssente
eziba ziguliddwa.
Ate omusolo gwa VAT ogubadde guggyibwa ku ttaka eritundiddwa nga liweza obukadde 150, Gavumenti zo eyagala ezongeze nga ettaka eriweza obukadde 250 n’okudda waggulu lye lisasula VAT. Abafuna emisaala emisava okusukka obukadde 10, Gavumenti eyagala okubaggyaako omusolo gwa bitundu 40 ku 100, okuva ku bitundu 30 ku 100. Abafuna emisaala eminene singa omusolo gwabwe guyitamu, Gavumenti eyagala eyongeze ku muwendo gw’omusaala ogutandikirwako okusasula omusolo,  kuva ku 235,000/= okutuuka ku 335,000/= okusobola okugonza ku bulamu bwa baamufunampola.
Abazannyi ba zzaala nabo Gavumenti eyagala okubasoloozaako ebitundu 15 ku buli 100 ku ssente ze babasasula oluvannyuma lw’okuwangula. 

Abakwatibwako bannyonnyodde  

Akulira okuddukanya emirimu mu kibiina kya bannamakolero ekya Uganda Manufactures Association, Dr. Ezra Rubanda, yagambye nti nnusu 200 Gavumenti z’eyagala okuteeka ku mafuta za bulumi naye tulina okutunuulira eby’enfuna nga bwen bitambula mu ggwanga, kubanga oluusi kiba tekyewalika. Wabula yawadde amagezi nti Gavumenti yeetaaga okukozesa ssente z’esoloozezza, okuzimba ttanka z’amafuta ez’amaanyi ezisobola okutaasa eggwanga mu kaseera ng’amafuta gabuze emirimu gireme kuyimirira.
Ku nsonga y’okweyongera kw’emiwendo gy’ebintu, Rubandan yagambye nti nga bannamakolero basobola okugezaako ne batayongeza miwendo gya bintu,b olw’embeera ebeera mu ggwanga.
Ate ye omumyuka w’omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ekyan KACITA, Omulangira Jjemba Kanaakulya Mulondo, yategeezezza nti buli avumenti lw’erinnyisa emisolo ku bintu kizing’amya enkulaakulaana y’eggwanga kubanga abakola ebintu,ababisuubula n’abasembayo okubigula bakendeera ekivaako
eby’enfuna by’eggwanga nabyo okukendeera.
Yagambye nti mu kiseera kino Gavumenti yandibadde eteeka amaanyi mu kuyamba bannamakolero n’abasuubuzi okulaba we bongera okugaziya bizinensi zaabwe kyokka emisolo bwegibeera waggulu embeera eno ezing’amya okukula kw’amakolero ne bizinensi kubanga abaguzi babeera batono ekiviirako n’ebyenfunan by’eggwanga okukendeera. Jjemba agamba nti mu kifo ky’okubinika emisolo ku bintu ng’amafuta Gavumenti yandibadde esoosoowaza okuyamba abasuubuzine bannamakolera okulaba
 ga bongera ku bungi bw’ebintu bye bakola okusobola okuzimba ebyensubulagana n’amawanga agatwetoolodde.
Mu myaka gye 90, abantu bwe bajjanga okusuubula wano, abantu bangi abaafunamu olw’ebintu bye batunda; okugeza abali mu byentambula,wooteeri n’awalala. Omwogezi w’abasuubuzi mu Kikuubo, Sam Muyomba yagambye nti Gavumenti tekyalina kulumirirwa eri muntu waabulijjo kubanga buli lw’erinnyisa emisolo y’asinga okunyigirizibwa ate ng’obuweereza obuyambira awamu abantu okugeza eby’obulamu,enguudo, amasomero n’ebirala tebikyukako. Muyomba agamba nti okulinyisibwa kw’emisolo ku bintu abikozesebwa abantu baabulijjo kiganyula bakungu ba gavumenti n’ababaka nga beegabira emisaala emisava. Awadde abantu baabulijjo amagezi okufuba okulaba nga banyiikira okukola n’okukekkereza. Ssentebe w’ekibiina omwegattira abagoba ba ttakisi mu ggwanga, Rashid Ssekindi, yagambye nti buli Gavumenti lw’eteeka omusolo ku mafuta buli muntu anyigirizibwa. Ono agamba nti Gavumenti mu kifo ky’okuteeka omusolo ku mafuta esaanye eyanguyirizeeko ku nteekateeka y’okuyiikula amafuta g’eggwanga osanga kinaataas arouk Minaana;Buli musolo gavumenti gweteeka ku bintu ebyeyambisibwa mu bulamu obwa bulijjo omuntu waabulijjo yasinga okunyigirizibwa naye ng’obuzibu bwonna buvudde ku bakulembeze.
Alton Ssekyaya:
Gavumenti omusolo egwagala naye bwemala okugukung’anya ate abaguwa etuganyulwamu ekintu eky’obulabe ennyo, Abantu bayambibwe. Racheal Asiimwe:
Gavumenti eno esinga kutulunya baavu kuba emisolo bwe gyongezebwa omuntu waabulijjo y’asinga okunyigirizibwa, yalemwa okuvaayo ku batunda amafuta. Kye bagamba bannayuganda kubanga obwavu bungi.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ekya National Enterprenuers and Trader’s Association (NETA), Dr. Musoke Thadeus Nagenda, agambye nti engeri Gavumenti gye   teekawo enkola y’okusolooza omusolo nga yeeyambisa tekinologiya, amaanyi yandibadde egateeka mu kukwatizaako bizinensi ezitanndika okulaba nga ikula esobola okwongera ku muwendo gw’abantu b’eggyamu omusolo mu kifo ky’okuzibinika omusolo ogugenda okuziretera okuggalawo. Agamba nti buli mwaka Gavumenti ezze eyongeza musolo ku bintu ebyenjawulo naye omuntu waabulijjo tafuna wabula okunyigirizibwa

Tags: