Amawulire

Abazigu basse haawusigaalo omulambo ne baguleka mu maka ga mukama we

ABATUUZE ku kyalo Manyangwa B mu Kasangati Town Council e Wakiso bali mu kiyongobero olw'abantu abatamanyiddwa okutemula omuwala yaaya.

Abazigu basse haawusigaalo omulambo ne baguleka mu maka ga mukama we
By: Samuel Tebuseeke, Journalists @New Vision

ABATUUZE ku kyalo Manyangwa B mu Kasangati Town Council e Wakiso bali mu kiyongobero olw'abantu abatamanyiddwa okutemula omuwala yaaya.

Yaaya ono ategeerekese nga Aceng, baamutidde mu maka ga mukama we Philip Obua e Manyangwa okumpi n’ekkanisa ya Sir Apollo Kaggwa.  Abatuuze baategeezezza nti mukama we teyabaddewo awaka ettemu lino we lyabeereddewo.

Omuvubaka wa bbooda ataayagadde kumwatukiriza mannya nga yabadde aleese nsawo y'amadda, ye yalabye omulambo guno oluvannyuma lw’okukonkona ggeeti nga tewali aggulawo n’akuba essimu ya nnannyini maka eyamulagidde okuwalampa ekikomera agwe munda. 

Ono bwe yalabye omulambo, n’ategeeza ssentebe w’ekyalo naye eyategeezezza poliisi y’e Kasangati. Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Rachael Kawala agamba nti bali ku muyiggo okuzuula abatemu bano nga poliisi omulambo yagututte mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Ssentebe w’ekyalo James Kateregga yasabye abalina obusobozi okussa kkamera ku bikomera zongere ku bukuumi.

Tags:
Mulambo
Batemu
Mukama
kuleka
Maka