Eby'okupunta ettaka erikaayanirwa bannamagye ababiri e Kalungu bizzeemu omukoosi

EBY'OKUPUNTA ettaka erikaayanirwa bannamagye ababiri  ku kyalo Bukula-Kiti mu ggombolola y'e Bukulula e Kalungu bizzeemu omukoosi, ebyuma ebireeteddwa okupunta ettaka lino bibuzizza neetiwaaka enteekateeka ne zongezebwayo.

Eby'okupunta ettaka erikaayanirwa bannamagye ababiri e Kalungu bizzeemu omukoosi
By John Bosco Sseruwu
Journalists @New Vision
#Kalungu
EBY'OKUPUNTA ettaka erikaayanirwa bannamagye ababiri  ku kyalo Bukula-Kiti mu ggombolola y'e Bukulula e Kalungu bizzeemu omukoosi, ebyuma ebireeteddwa okupunta ettaka lino bibuzizza neetiwaaka enteekateeka ne zongezebwayo.
 
Ettaka eririko kalumannyweera likunukiriza mu yiika 300 nga ly'agulibwa omutuuze Col. Tom Kwizera kyokka ono alumiriza nti munnamagye munne RTD. Major Nuuwe Kyepaka nti akozesa olukujjukujju okuyingira mu ttaka lye lino era bano baludde nga bagugulana.
 
Dpc W'e Kalungu Grace Nyangoma Ng'ayogera Eri Abatuuze Mu Lukiiko Lw'ettaka Erikayanirwa Abajaasi

Dpc W'e Kalungu Grace Nyangoma Ng'ayogera Eri Abatuuze Mu Lukiiko Lw'ettaka Erikayanirwa Abajaasi

RDC w'e Kalungu Dr. Paddy Kayondo annyonnyodde nti abakulembeze n'abeebyokwerinda okusitukiramu kyaddiridde omulanga gw'abatuuze abazze balaga okutya ku b'emmundu nti abaayibwa Maj. Nuwe ku kyalo okukuuma ettaka lye abatuuze be balumiriza okubateeka ku bunkenke ng'abali mu ddwaniro.
 
Bano baasoose mu lukiiko olwetabiddwaamu abatuuze ne kisalibwaawo nti abapunta ku ludda lwa Maj. Nuuwe n'aba Kwizera beegattibweko owa Disitulikiti atalina ludda bapunte ettaka lino, kyokka omulimo gubadde gukyagenda mu maaso 'Network' z'ebyuma ne zivaako ekibaviiriddeko okuyimirira nga tebannatuuka ku nzikiriziganya.
 
Abapunta Nga Baliko Bye Bategeeza Rdc Kayondo N'abalala Ku Kkono

Abapunta Nga Baliko Bye Bategeeza Rdc Kayondo N'abalala Ku Kkono

Abakulu basazeewo omulimo gw'okupunta ettaka lino guddemu ku Lwokubiri lwa wiiki ejja era RDC Kayondo ne DPC Grace Nyangoma basabye abatuuze e Kalungu abagugulana ku ttaka okukozesa abapunta bamalewo  mangu obutakkaanya obuyinza n'okuviirako okuyiwa omusaayi.
 
Ssentebe w'ekyalo kino John Ssegawa yeebazizza Gavumenti olw'okuwulira omulanga gwabwe n'eyingira mu butakkaanya buno mu bwangu ky'agambye nti kigenda kukendeeza ku bunkenke mu batuuze.