Amawulire

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira dduyiro basobole okulwanyisa endwadde ezitasiigibwa

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira dduyiro basobole okulwanyisa endwadde ezitasiigibwa 

Dr John omagino akulira ddwaliro lyemitima e Mulago ( white) Dr Peter Rwabi amyuka omukulu we ddwaliro lye Mitima eryq UGANDA HEART INSTITUTE E MULAGO
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

=

Okukola dduyiro lye kubbo lyetulina okukwata okusobola okwewala endawdde ezitasiigibwa naddala obulwadde obukosa omutima,kookolo,omugejjo,puleesa n’endala.

Endwadde ezitasiigibwa zandyeyongera okutugumbula bannayuganda ssinga abantu tebajjumbira kukola dduyiro.

Okulabula kuno kukolebwa Dr John Omagino akulira eddwaliro erijanjaba endwadde z’emitima erya Uganda Heart Insititute e Mulago era bwati bwagamba, “buli muntu yetaaga okukola dduyiro obulamu bwe bwonna, bwaba mwana muto,azannya awaka ne ku ssomero era buli ssomero lirina okubeera n’ebisaawe abaana mwebakolera dduyiro ate bwamalako emisomo, ne gyetukolera walina okubaayo ebiffo abantu webakolera dduyiro. Mu mbeera eno ,gavumeenti erina okuteekawo amateeka amakakali ku bakozesa ,bateekewo ebiffo abakozi gyebakolera dduro  n’ebiseera mwebamukolera dduyiro kibasobozese okubeera abalamu.Kubanga omuntu tasobola kutuula okuva ku myaka 25 okutuuka ku 60 nga takola dduyiro kubanga egyo gye myaka egisinga okubeera mu bulabe bw’okukosebwa.

Mu Uganda,okusinziira ku kunoonyereza kulaga nti abaana 1,600,000 beebazaalibwa nobulwadde bw’omutima sso nga ku buli abantu abakulu bana abakeberebwa, omu ku bbo alina obulwadde bw’omutima.

Ye amyuka eddwaliro ly’emitima Dr Peter Rwabi agamba nti okukyusa mu ndya kikulu nnyo mu kutangira endwadde z’emitima era annyonnyola bwati

Obulwadde bw’omutima businga kuva mu  nkozesa yebintu byetulya kubanga waliwo emmere gyetulya etatuyamba ng’okunywa nokulya ebintu ebirimu ssukaali omungi ennyo n’omunnyo, okulya amasavu amangi, okunywa ennyo omwenge n’ebirala. Omuntu bwetanira ennyo enbintu bino agejja ekireetera obuzito bw’omubiri okweyongera , kino kiviirako amasavu okuzibikira obusuwa obutambuza omusaayi ekikosa omutima n’ebitundu by’omubiri eby’omuwendo.

Mu mbeera eno, bwokyusa byolya ate nonyiinkira okukola dduyiro ng’okutambula, okuwuga ,okubuula omugwa,okuamba akabiika oba okubaka n’ebirala, kiyamba nnyo mu kusala amasavu agali mu mubiri ekitangira endwaqdde z’emitima

Tags: