ABAVUBUKA abakola mu makolero mu disitulikiti y’e Mukono basabye Pulezidenti Museveni alowooze ku ky’okussaawo omusaala gw’omukozi ogutandikirwako eri buli munnansi.
Bino baabigambye Hajjati Hadijah Namyalo, bwe yabadde agenze mu makolero ag’enjawulo e Mukono okuwulira ensonga z'abakolerayo. Amakolero ge yalambudde kuliko: Dembe Trading Enterprises e Nama, Wilma International Ltd e Mbalala, Sunshine Lighting Co. Ltd e Namataba n'endala.
Yasabye abakozi abasoba mu 500 okwekolamu SACCO baganyulwe mu ssente za Gavumenti; PDM, Emyooga, GROW n'endala.
“Engeri yokka omuntu gy’asobola okumalako n’obulamu alina okubeera n’ekintu ekirala ekiyingiza ensimbi n’atatunuulira mulimu gumu kuba y’ensonga lwaki ne Pulezidenti yakiraba n’aleeta PDM, Emyoga, n’endala okweggya mu bwavu,” Namyalo bwe yategeezezza.
Ku kya NIRA okujja mu fakitole, Namyalo yeeyamye okubatuukirira abalage obwetaavu kuba omuntu atalina densite kijja kumuzibuwalira okulonda omwaka ogujja.
Ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Mukono, J.B Wamala yagambye nti, abavubuka bangi baali tebalina mirimu naye ekirungi Pulezidenti yayita bamusigansimbi okutandikawo emirimu ekiyambye okuwa abavubuka emirimu. Namyalo yasabye abakyala mu fakitole nabo bafune ssente za PDM ne GROW.
Yasabye abavubuka bano okulonda Museveni ayongere okutwala eggwanga mu maaso. “Uganda mu kiseera kino erina fakitole ezisukka 50,000. Nga zino ziwadde Bannayuganda emirimu gattako omusolo gwe ziyingiza mu ggwanika ly’eggwanga ekiyambye okusitula ebyenfuna