AKULIRA embeera z'abaseirikale n'ebyemizannyo, mu poliisi ,Dr. Hadijah Namutebi ,agambye nti eby'emizannyo biyambye kinene nnyo okulwanyisa obumenyi bw'amateeka n'okwongera okutabagana n'abantu babulijjo.
Annyonnyodde nti emizannyo gamba nga omupiira gw'ebigere n'okubaka, biyambye okukuuma abantu nga balamu bulungi, okwolesa ebitone byabwe, okukolera awamu n'okwemalako endwadde z'ebirowoozo.
Bino abyogeredde ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu Kampala, bw'abadde akulembeddemu abakungu abalala okukwata obululu bw'abava mu bibinja by'empaka z'ekikopo kya IGP CUP Tournament.
Akalulu Wandegeya kagisudde ku FFU, Omoro yaakukwata PTS Kabalye, Mbale City ettunke ne Buikwe , ate Astu yaakukwata Ntungamo.
Mu gw'okubaka, Kira Division yaakwambalagana ne Iganga, ate Mitooma ekwate Lira, PTC Kabalye ettunke ne Mbale City ate ICT afaafaagane ne Omoro.
Omu ku baddayirekita mu FUFA, Aisha Nalule, asiimye poliisi olw'enteekateeka eno era n'asaba abazannyi okwongera okugondera ebiragiro n'amateeka agafuga omupiira.