MU wiiki bbiri zokka nga bamaze okumuwaana olw’okwetaba mu mpaka za Grammys, abawagizi bakkakkanye ku Eddy Kenzo ne bamuvuma n’okumulangira okwepima ku bamusinga yeeyongere amaanyi, obutamanya, obutasiima n’okwekaza.
Abantu baabulijjo bwe baawulidde ebigambo bye yayogedde ku muyimbi, Philly Bongole Lutaaya eyayimba ennyimba ezitambuza abantu mu Ssekukkulu okuli; Tumusinze, Katujaguze, Zuukuka, Ssekukkulu eyasooka, Merry Christmas n’endala ne bamulumba.
Abantu baagerageranyizza n’ennyimba za Kenzo okuli Zigido, Bolingo, Jambole, Mwana muwala, Kamulesi go, Sitya loosi, Kyomisinga ne Stamina n’eza Lutaaya okuli eza Ssekukkulu, Born in Afrika, Frightened, Faranga, Nkooye, Ngenda Kampala, Diana, Nazzagwaki ne balaga nti eza Lutaaya ziri wala nnyo.
Okulumba Kenzo byaddiridde okudda mu luyimba lwa Lutaaya olwa Born in Afrika abamu ne bagamba nti yaluzzeemu bubi.
Bwe yabadde abaddamu yagambye nti, alina ennyimba ezirina amaanyi ku mitimbagano ezisinga n’eza Lutaaya ng’ate ezize tezimazeeyo myaka mingi ng’olwa Lutaaya ekitegeeza nti alina by’asinga Lutaaya.
Kino kyatabudde embeera era waliwo n’abaamulangidde obuteetegereza bintu ng’omuyigirize kubanga yandibadde amanya nti ku mulembe gwe omutimbagano gwa yintanenti tegwaliwo mu budde Lutaaya we yakubira ennyimba, ekitegeeza nti, eza Kenzo zisobola okusinga eza Lutaaya okumanyika.
Olutalo lwavudde mu bantu ba bulijjo ne lutuuka mu ba Blogger ne Bapulomoota ne kisukka.
Isma Lubega, Blogger eyeeyita Isma Olaxess yagambye nti; Kenzo yayagadde kukolera mawulire ku muyimbi amusinga nga Lutaaya naye afune omukisa ogumwogerako. Ebya Grammy bwe byamulema n’anoonya bw’akomawo mu mawulire kwe kusala amagezi gano.
Andrew Mukasa Bajjo; Yamuwadde amagezi obutaddamu kwegeza mu Philly Lutaaya kubanga Kenzo yabuliddwa ennyimba z’ayimba n’adda mu z’omugenzi ate gwe yalaze nti si wa maanyi nga ye (Kenzo).
“Kenzo ne bw’oba olinamu amaanyi g’obadde ofunye, okwefuula ow’ekitalo nga weerijja ku bakusinga kiyinza okukuleetera obuzibu.
Ye Pulomoota Suudiman yagambye nti; Kenzo bye yayogedde nti asinga Lutaaya bya butamanya kubanga oyo muyimbi tawunyika mu wano.
Ffe tuteeka ssente mu ndongo era tumanyi bw’etambula, njogera nkakasa nti kuno kwewulira lyanyi omuntu ly’atalina era Kenzo toddangamu okwepima ku bakusinga.