NG’OMWAKA guggwaako, ebikujjuko biba bingi. Ebaayo abategeka emikolo gy’embaga n’okwanjula ate teweerabira nti wabaayo Ssekukkulu n’okumalako omwaka.
Ensonga zaffe wano nga bwe zeekuusa ku by’omukwano, twagadde tusoggole ebirungo, omukyala omufumbo by’oyinza okussa mu laavu yammwe wamma balo n’akwongera ekisanjappakalasiti. Ebimu ku byo, bye bino;
1. Omwami wo muyambeko ng’ayambala engoye: Ebisookera ku mubiri bw’aba
amaze okubyessaako, tekiriimu sitaani ggwe omukyala okumuyambako ng’ayambala
ebiddako. Essaati gimusseeko n’ettaayi bw’aba musibi waayo muyambeko okugisaba
wamu ne sitookisi olabe bw’ataagende ku mulimu ng’alowooza ku ggwe wekka.
2. Ensiibula y’omwami ng’agenda okukola gisseemu ka ssupu akazito nga mulimu n’akanzaali akasonsomola: Bino ebintu bya bulijjo, naye osanga abakyala batono abasiibula abaami baabwe nga bagenda okukola.
Eriyo abagenda bombi ku mirimu naye nga we baawukanira, tewaba na kagambo ka ‘sswiiti siiba bulungi’. Ggwe abadde takikola, leero kyusaamu, munno muwe ku kafuba ne ka ppeeke tekagaana. Ku luno, omukwano mugusseemu Oluzungu ng’abamu bwe batera okugamba nti ebyo ebintu biba by’Abazungu naye ku luno mubikole.
3. Wuliziganyaako n’omwami wo obutasalako: Mukubire ku kasimu akataliimu kusaba
byetaago era nga tekalina kye kamujjukiza kukola. Mulage nti ye munno ddala, bulijjo n’olubeerera. Wadde ayinza okusooka okulowooza nti olina ky’omubalako, naye bw’anaalaba ng’ovudde ku ssimu nga tolina ky’omusabye ate nga n’olulala okoze bw’otyo, ajja kutegeera nti ddala omuli ku mutima era ajja kukwongera ekisanja.
4. Wezze buggya: Mwambalire buli obugoye obwamukolerana nga yaakakulaba,
weenyirize olabike bulungi ng’ekyokulya. Teri musajja ayagala mukazi alabika bubi.
Naawe siba ku musono gw’enviiri oguliko era wano waliwo abagenda okutandika
okwebuuza nti bwe baba tebabawadde ssente za kusiba nviiri bakole batya?
Wano we tutuuse, ssente y’ekikazi eba erina okuvaayo.
9. Ebisoko mu kunyumy akaboozi: Bwe mutuuka mu kisaawe, akazannyo kasseemu obuyiiya n’ebirungo ng’oyita mu kuleetayo ku busitayiro obupya 10. N’ekirala, omwami wo muwengayo akazannyo ng’obudde busaasaana.