Amawulire

Poliisi ekutte 5 ku by'okubba, okukyusa n'okutema ppikipiki sipeeya mu Kampala

Abantu 5 abagambibwa okwenyigira mu kubba pikipiki n'okuzikyusakyusa wamu n'okuzitema sipeeya, bakwatiddwa poliisi okuva e Busabala ne mu Ndeeba.

Poliisi ekutte 5 ku by'okubba, okukyusa n'okutema ppikipiki sipeeya mu Kampala
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 5 abagambibwa okwenyigira mu kubba pikipiki n'okuzikyusakyusa wamu n'okuzitema sipeeya, bakwatiddwa poliisi okuva e Busabala ne mu Ndeeba.

Omu ku baakwatiddwa

Omu ku baakwatiddwa

Mu kikwekweto kino, poliisi ezudde pikipiki 12 ezigambibwa okuba enzibe era mu kiseera kino, egenda mu maaso n'okuzuula bannyini zo abatuufu.

Abaakwatiddwa, kuliko Ivan Mugisha 28 ne David Kabanda 25 nga bano baggyiddwa Busaabala kati n'abalala basatu abaggyiddwa mu Ndeeba.

Kino kiddiridde bano okukwatibwa ku bigambibwa nti babbye pikipiki nnamba UMA 330NR era omusango ne baguloopa e Nabweru.

Omuntu omulala ateeberezebwa eyakwatiddwa.

Omuntu omulala ateeberezebwa eyakwatiddwa.

Kitegeezeddwa nti abaserikale baagirondodde ne bagizuula e Busaabala ne bakwata abantu babiri nabo abaalonkomye bannaabwe mu Ndeeba be bakolagana nabo okuziggyamu obuuma obuzirondoola n'okuzikyusakyusa.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti abakwate babanoonyerezaako ku misango egyaloopebwa e Nateete, Jinja Rd, Nabweru n'awalala era omuyiggo gw'abalala, gugenda mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Pikipiki
Bantu
Basatu
Kutema
Kibuga