ABANTU 21 abagambibwa okubeera abamenyi b'amateeka, bakwatiddwa poliisi mu kikwekweto ky'ekoze e Namayingo.
13 ku bano basajja ate 8 bakazi era nga baggyiddwa mu bbaala mu ssaawa ezitakkirizibwa, n'ebifo mwe bazannyira zzaala, abo abawogganya ebidongo n'abo abagambibwa okwekweka mu bifo ebikyamu.
Bonna abakwatiddwa, bakuumirwa ku poliisi e Namayingo ng'okubasunsulamu, bwe kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East , Micheal Kasadha, asabye abaddukanya bbaala n'ebifo omuzannyirwa zzaala, okugoberera ebiragiro n'essaawa ze balina okukomako okukola.