Ebigambo by'obusagwa Jjajja Ichuli Isma Olaxes bye yasembyeyo okwogera

7th May 2023

"BAMUKUBYE… Genda …Genda…Genda, kumaaniina, mmwe muleetedde abantu obusungu bwe buti mubaleetedde obusungu, mubaleetedde obusungu!!.

Isma Tusuubira Lubega abadde amanyikiddwa nga Isma Olaxes oba Jjajja Ichuli
NewVision Reporter
@NewVision
27 views

"BAMUKUBYE… Genda …Genda…Genda, kumaaniina, mmwe muleetedde abantu obusungu bwe buti mubaleetedde obusungu, mubaleetedde obusungu!!.

Mwe ne mwepalawuda mu mmotoka ez’ebbeeyi, mutambuza famire zammwe paka Bulaaya ne mwejjanjabira mu malwaliro America.

 Omuntu wa bulijjo talina ky'akufunamu omunyunyunta, akukuuma asula bweru kyokka abaana be tebasoma mbu 'Minisita of Labour, what type of Minister of labour?' N'ojja mu ofiisi yenna ne yeepalawuda n’obuwala obwambadde obusikaati nga bwonna obuba bwabugwamu era ndi PA era ndi PA, kumaaniina, tekalina na kye kalina na ku ggwanga butambula butambuzi embwa ezo.

 Mutuleetedde obusungu bungi nnyo mmwe, tubakolera naye tubataddeko amaaso abiri, tubakolera naye tubataddeko amaaso abiri! ‘Time will come’ ogya ku dduka mu ggwanga lino ogenda mu ddala ojja kudduka n’olugezigezi lwammwe, ne Mbenkoni ze mwakalaba mwe musinikira amannyo mujja kuziraba.

Kati oyo ali ku kyalo ‘apulitendinga’ kyokka omukozi amukolera ali bubi, tasasulwa, abaana be tebasoma naye ye atambula n’emmotoka nnya (4) , Minister of Labour , Minister of Labour, Minister of Labour kati genda olebalingire mu ttaka.  Yes…. Genda…… Genda.... bamukubye….!! Wano wennyini we mbeera bajja kubakuba!

Bammemba ba Palamenti abakozi bammwe bankubira temubawa ssente, omuntu n'akuvuga n’omutuuza mu mmotoka n'abeeramu essaawa n’ogenda mu loogi n'oyenda n'omalayo 'Hours' munaana tomuwadde mmere ali mu mmotoka n’omuvugisa talaba famire ye gwe n’olowooza mbu ki oba mututta mututte mutumalewo. Naye nga tujja, omu ku omu ‘We shall feel it‘. 

Mujja kukiwulira temujja kudda awo muwolowooze okwepalawudira mu ofiisi bamulondamu bulonzi naye ne yeefuula nti bagimuzaaliramu n’omutuukako yenna n'awanika obusige n'awanika amatama n’olowoozaamu nange ofiisi gye weeyagaliramu baagirondamu bulonzi bantu naye teweefuula nti nno oli wa kitalo nnyo, toli wa kitalo!!

Mbwa! Toli naye ne bafuula bantu emmombooze, baagala buli muntu amufukaamirire ku maviivi ne bw'oba omukoledde okusasula ayagala omwegayirire omufukaamirire ob’embwa, gwe mbwa bano be mbwa"

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.