Eddagala lino liyitibwa UBV-0IN nga Nambatya n'abakugu abalala 10 okuli n'ab'Ekizungu be baalitabula nga bakozesa emiti n'ebimera ebya wano mu kunoonyereza okwavujjirirwa Gavumenti ya Uganda n'agamba nti bafundikira okulirigezesa era baakulyanjulira eggwanga mu October, 2021.

Dr Nambatya ng'asomesa
Ebirala aba NCRI bye bakola
. Beekenneenya eddagala erikolebwa mu butonde okukakasa oba lijjajjaba endwadde ezi a zirisuubira okujjanjaba.
Beekebejja ebimera omusawo mw'abikoze, ebipimo biyite ddoozi omuntu z'alina okukozesa ng'alikozesa, okumanya ebbanga eddagala eryo lye limala nga likola oluvannyuma ne basimdika abakola eddagala eryo mu kitongole ekiro doola omutindo gw'eddagala ekya National Drug Authority ne balikakasa era ne balikkiriza okugenda ku katale.

Dr Francis (ku kkono), Dr Nambatya ne Mwami Weeraga mu musomo gw'eddagala ly'obutonde mu situdiyo
. Bakola eddagala nga eddagala eryokunywera ku caayi, omubisi okuva mu kikajjo n'enkooge - ogusitula amaanyi g'omubiri, ekiriisa ekizimba omubiri, okusomesa abantu ku bikolo eby'eddagala nga omuti gwa Rosemary oguggula abantu obwongo, okuleeta amaanyi, ekigaji, Jam asiigi wa ku migaati, sirapu z'ekifuba ne ssennyiga, n'ebirala.

Obuyambi eri abatandika okukola eddagala ly'obutonde. Dr. Grace Nambatya alaze abasawo mu ddagala ery'obutonde abeetaaga obuyambi mu by'ensimbi gye bayinza okuddukira, omuli:
(Ebifaananyi bya Lawrence Mukasa)