China erabudde America ku by’okwesasuza ku Iran

CHINA eyingidde mu kanyoolagano ka Iran ne America akaliwo n’erabula America obuteetantala kwesasuza olwa bakkomando baayo abattiddwa ebibinja ebiwagirwa Iran e Jordan.

China erabudde America ku by’okwesasuza ku Iran
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#China #Iran #Amerika

CHINA eyingidde mu kanyoolagano ka Iran ne America akaliwo n’erabula America obuteetantala kwesasuza olwa bakkomando baayo abattiddwa ebibinja ebiwagirwa Iran e Jordan.

Guno gwe mulundi ogwasoose, abajaasi ba America okuttibwa mu kyondo kya Buwalabu okuva olutalo lwa Yisirayiri n’abakambwe ba Hamas lwe lwatandika mu October 2023 ekyavuddeko Pulezidenti wa America, Joe Biden Katikkiro wa Bungereza, Rishi Sunak okulabula nti wagenda kubaawo okwesasuza okutabangawo.

Biden yalaalise nti America yaakufeffetta abaalumbye n’abaategese olulumba luno ebakube nga ne bwe banaaba beekwese ku mwezi, ejja kubakukunulayo!

Mu kwanukula, Iran yawakanye okubeera emabega w’obulumbaganyi buno wadde okuwagira abakambwe abagambibwa okusindika Drone ezaakubye enkambi eno, ng’egamba nti America egisibako matu ga mbuzi kugiriisa ngo.

Baabadde bakyali awo, China n’etegeeza America nti amawulire g’okwewera okwesasuza ku Iran gaabatuuseeko; Kyokka tusuubira nti embeera ejja kusigala nga ya bukkakkamu kubanga ne Iran alumirizibwa yavuddeyo dda mu lujjudde n’etegeeza nti teyabadde mu lukwe.

Kale abeewera okukuba Iran tebagezaako okufuuka ekiiso ky’embuzi,” ayogerera Minisitule ya China ey’ensonga ez’ebweru, Wang Wenbin bwe yalabudde

Wabula ku Mmande, omwogezi w’olukiiko lw’ebyokwerinda olw’ekibiina ky’amawanaga amagatte, John Kirby yategeezezza bannamawulire nti America tenoonya lutalo ku Iran, naye obulumbaganyi obwakoleddwa ku nkambi yaayo omwafiiridde abajaasi basatu n’abalala 34 ne bafuna ebisago tebuyinza kugendera awo, nga bwetaaga okwanukulwa, abalumbaganyi bamanye ani ateepampalikwako.

TRUMP ATABUKIDDE BIDEN KU BYA IRAN

Eyali Pulezidenti wa America era asuubirwa okwesimbawo ku Bwapulezidenti omwaka guno, Donald Trump eggulo yawalabudde gw’avuganya era eyamuggya mu ntebe, Biden ng’amutenda obutiitiizi n’okuttisa abajaasi Abamerica olw’obutiitiizi.

Yagambye nti America yeetaaga omukulembeze atatiitiirira nsi ye era akuuma ekitiibwa kyayo eky’obwasseggwanga, atalinga Biden eyavumbedde ng’abajaasi battiddwa.