OKUVA Gavumenti ya NRM lwe yaddamu okulondebwa mu January wa 2021 n’erayira mu May, ebintu bingi ebikoleddwa era ekisanja we kinaggwerako ng’ebitundu 90 ku 100 bijja kuba bikoleddwa.
Manifesito Gavumenti ya NRM kwe yanoonyeza obululu eya 2021-2026 yasuubiza okukola ebintu 577. Mu myaka ebiri n’ekitundu egyasooka ebitundu 35 ku 100 byakolebwa.
Ebyasuubizibwa byetoolerera ku; kutondawo mirimu n’obugagga eri Bannayuganda bonna, okutumbula ebyenjigiriza, ebyobulamu n’amazzi, enfuga y’amateeka n’obwenkanya, okukuuma abantu n’ebyabwe, okutumbula ebyenfuna n’ebyobufuzi.
Mu birala ebituukiddwako mulimu okukola enguudo, okubunyisa amasannyalaze n’okwongera ku bungi bwago.
Ebintu ebitundibwa mu mawanga g’ebweru byeyongedde era eggwanga terikyali mu mbeera ya kusaka kyokka. Kino kivudde ku katale k’ebintu akali mu mawanga g’obuvanjuba bwa Africa, China n’awalala ekitumbudde ebyobusuubuzi n’eggwanga ne lyongera okukula.
Akatale era keeyongedde ne mu nsi yonna kuba bingi ku bintu ebyali bigulibwa okuva mu mawanga g’ebweru, mu kiseera kino Uganda ebyekolera. Kino kireeseewo enjawulo nnene kuba ssente nnyingi ezaali zifuluma eggwanga zisigala wano ne zitumbula eggwanga.
Ebintu ebitundibwa ebweru ebisinga okuvaamu ssente kuliko; emmwaanyi ne zzaabu ebyeyongedde mu muwendo n’obungi obutundibwa.