ROGERS Sekubunga nnannyini ffaamu ya Sekubunga Mushroom Growers mu Lusaka Kirombe e Makindye y’omu ku balimi abeetaba mu mwoleso gwa Vision Group etwala ne BUKEDDE ogwa Harvest Money nga yayolesa ebintu eby’enjawulo by’akola mu butiko bw’agattako omutindo n’afunamu ssente eziwera.
Alima ekika ky’obutiko bwa ‘Oyster’ obubeera obweru nga bugejja. Yayolesa ebintu by’akola mu butiko omuli ; wayini, kaawa, ssabbuuni, obuwunga bwa soya ne mukene omuli obutiko, ebinyeebwa ebitabuddwaamu obutiko n’ebirala.
Yalaga n’engeri gy’okola sumbuusa mu butiko n’ofuna ekipya. Agamba nti, kino kye bakola ku ffamu ye y’emu ku nnima ey’omulembe esobola okugoba obwavu mu balimi mu ggwanga. Agamba nti, yafunye ekika ky’obutiko ekya ‘Batoni’ ky’agenda okwongera ku ky’alina.
Yeenyumiriza mu mwoleso guno kuba gumuzibudde amaaso bwe yayigira ku balala nti, ennimiro z’obutiko z’atunda asobola okwongerako okulima obutiko nabwo n’abwongerako omutindo n’asobola okuganyulwamu ng’abalala. Sekubunga agamba nti, yatandika okweyunira emyoleso gya Harvest money emyaka ena emabega nga yatandikira ku mudaala mutonotono.
Yagenda okumalako omwoleso ogwasooka ng’afunye kitono. Yayongera okumanyika mu balimi abaafuna ebimukwatako ne bongera okumunoonya ng’omwoleso guwedde.
Okuva olwo yeetaba mu mwoleso guno nga yeeyongera okumanyika nti, bakasitoma bongera okumutegeera n’okumwekakasa. Ennimiro n’ebintu ebirala by’akola abitundamu bungi ddala ne basigala nga beetaaga ebirala. Agamba nti, ssente z’ateekamu okwetaba mu mwoleso zikomawo mu bbanga ttono n’atandika kuyoola magoba.
ATANDIKA FFAAMU Y’OBUTIKO
Ffaamu yagitandikawo mu biseera bya Covid mu 2019. Yalina obumanyirivu mu kulima obutiko, nga yasooka kukolera ku ffaamu y’Abachina e Luweero.
Yapangisa ekifo w’ayinza okubulimira n’asimba ebiwempe mwe yateeka ennimiro 500, ze yalabirira obulungi n’akungula obutiko bwe yafunamu ssente eziwerako.
Ebiseera bino byali bya Covid nga bangi bamutuukirira ne bagula obutiko obw’okulya nga bukola nga enva era ng’eddagala. Bwe yafuna ssente ezigula ppamba kw’ayiwa ensigo y’obutiko n’atandika okumerusa ennimiro ezize z’akozesa n’okutunda.
Yasooka kukola nnimiro kw’alimira. Yagaziya omulimu bwe yatandika okukola ennimiro eziwerako nga bw’azitunda mu balimi abalala. Kuno yagattako okusomesa abalimi ennima y’obutiko eri ku mulembe n’okubafunira akatale nga babulimye mu bungi.
Agamba nti, olw’okuba abalimi babadde balima obutiko buno ne bubeera bungi ku katale, kyokka nga tebalina kye babukolamu okuggyako okubwanika ne babutereka n’okubulya. Baaguzizza ennimiro bwe babukungula mu bungi abufunira akatale n’okubwongerako omutindo.
WAYINI
Wayini amukola mu butiko obwakakungulwa kubanga mulimu amazzi mangi. Buno abufumba ne buggya bulungi kubanga baagalamu mazzi.
Amazzi gano ge gatabulwa mu mukifo kimu wokka mu Uganda ku Grand Plaza okuliraana akatale ka USAFI
KAAWA
Obutiko abukolamu ensaano nga osobola okugyongeramu amajaani oba kaawa gwe tunywa.
Olumu bagikola nga ya kulya n’etabulwa mu binyeebwa, mukene n’ebirungo ebirala n’otundamu ssente eziwera.
Obutiko bwetaaga amazzi mangi okutandikira ddala mu kukola ennimiro okutuusa okukungula.
SSABBUUNI MU BUTIKO
Ssabbuuni amukola mu butiko obukaziddwa obulungi. Obutiko abunnyika oba okubufumba okusobola okuvaamu ebirungo ebyetaagibwa. Wabula ebirungo bino abiggyamu na bwegendereza bireme okwonooneka.
“Mu butiko nkenenulamu amazzi oluvannyuma ne nnyongeramu ebintu ebirala ebikozesebwa mu kukola ssabbuuni. Ssabbuuni ono mulimu anaaba omubiri n’anaaba mu nviiri. Mu butiko mulimu ekiriisa kya Vitamiini D, ekiweweeza omubiri n’okuguliikiriza singa obikozesa. Wabula okozesa ebirungo ebimala ssabbuuni ono obutayokya amukozesa”, Sekubunga bw’agambaFFAAMU YA BULAMBUZI
Buli alambula n’okusoma asasuzibwa. Alina abakozi 14 b’asasula omusala n’okubaliisa ku ffaamu, wabula beesuza.
Yagula ebyuma ebiyambako mu kupakira ennimiro nga mu mwezi afulumya ennimiro 40,000 ezizitowa kkiro emu n’ekitundu z’okungulako okumala emyezi esatu.
OKUSOOMOOZEBWA
l Obutiko bwetaaga amazzi mangi nga bukula oluusi agatabaawo.
l Weetaaga obutiko obuwerako okusobola okukola kkiro y’obutiko ekaziddwa.
l Ebikozesebwa mu kukola ennimiro z’obutiko bya bbeeyi naddala obuveera, ebikomo ebikozesebwa ne ppamba kubanga takyalabika ng’aggyibwa Tanzania