Hope Mukasa azzeeyo ku Kings Collage Buddo gyeyasomera emyaka 50 emebega okuzzaawo ettutumu lw'okuyimba n'ebitone

OMUYIMBI era Munnabitone Hope Mukasa Bukenya avuddeyo okuzzaawo ettuttumu ly’okuyimba ku King’s College Buddo.  Hope Mukasa azzeeyo ku Kings Collage Buddo gyeyasomera emyaka 50 emebega okuzzaawo ettutumu lw'okuyimba n'ebitone 

Hope Mukasa ng'ali ku kasozi Buddo
NewVision Reporter
@NewVision

OMUYIMBI era Munnabitone Hope Mukasa Bukenya avuddeyo okuzzaawo ettuttumu ly’okuyimba ku King’s College Buddo.

Ku lwomukaaga oluwedde March 08,2025,Mukasa yazzeeyo e Buddo ng’omugenyi omukulu ku mukolo gw’empaka z’ennyimba ezawanguddwa enju ya Grace.

Hope Mukasa yava ku King’s College,Buddo mu 1975 gy’emyaka 50 egiyise. Agamba nti eno gyeyayigira okuyimba n’okukuba ebivuga wamu ne banne abalala bangi.

Mu kiseera kyabwe,balinanga ebisenge bibiri okuli mwebatendekera okuyimba (music room) neekyo omwaberanga ebivuga (Band room).

Hope Mukasa ng'ali e Buddo

Hope Mukasa ng'ali e Buddo

Ebbanga bweriyise,ebisenge ebyo nebifuna obuvunanyizibwa obulala olwo ekisenge ky’okuyimba nekiteekebwa mu kizimbe kya ofiisi z’essomero (Administration block).

Mukasa yeyaamye okuddabiriza ebizimbe ebibiri ebyo,okuteekamu ebivuga ne situdiyo,abaana baddemu okuyiga okuyimba kuli okwedda wabula si kukozesa tekinologiya wa kompyuta gyeyagambye nti ayonoonye okuyimba.

Ono ajjukirwa okutandika ekifo ekisanyukirwamu ekyayitibwanga Sabrinas Pub kyeyatandika mu 1995 ekyatutumula abayimbi bangi omuli Juliana Kanyomoozi,Iryn Namubiru,Jose Chameleon n’abalala