Richard Masaaba nga mukugu mu by’okukanika yingini za mmotoka enkola empya n’enkadde e Kabowa agamba nti bbulooka za yingini za mmotoka enkola empya kati ezisinga za Aluminium okuva ku z’ebyuma ebimanyiddwa nga Cast Iron.
Makanika Ng'alaga Yingini Enkola Empya.
Masaaba agamba nti kumpi ebisinga okuvaako emmotoka okukyamuka byetooloolera ku binnyogoza yingini omuli,
-Okuggwamu kw’amazzi oba coolant mu Ladiyeeta.
-Ladiyeeta okuba ng’etonnyesa amazzi oba coolant.
-Ppampu y’amazzi okuba enfu.
-Ffaani za yingini okuba nga tezikola.
-Ekisaanikira kya laadiyeeta okuba nga kiyisa amazzi oba coolant.
- Woyiro wa yingini okukendeera ekisukkiridde
-Okuzibikira kwa ekizoosi nga tefulumya mukka guva mu yingini mu bwangu.