Amateeka amakakali ku baddereeva abavugisa n'ekimama

15th May 2025

GAVUMENTI eyongedde okumyumyula ebibonerezo ku baddereeva b’ebidduka abazzaemisango naddala okuvuga sipiidi n’abavugisa ekimama ne batta abantu n’okutuusa obuvune obw’olubeerera ku balala.

Poliisi ya CPS mu Kampala ng’ekola ebikwekweto ku mmotoka ezirina ebipapula.
NewVision Reporter
@NewVision
28 views

GAVUMENTI eyongedde okumyumyula ebibonerezo ku baddereeva b’ebidduka abazza
emisango naddala okuvuga sipiidi n’abavugisa ekimama ne batta abantu n’okutuusa obuvune obw’olubeerera ku balala.
Ebibonerezo bino Gavumenti ebitadde ku biragiro ku sipiidi ebiri mu buwandiike (Speed
Regulation) mw’etadde ekkomo lya sipiidi ku bidduka eya 30km/h mu bifo omuli eby’olukale. Ebifo bino muzingiramu okwetooloola n'okuliraana amasomero, amalwaliro, obutale, obubuga, amasinzizo n'ebirala omuli abantu abangi.
Ebiragiro bino, ‘Speed Regulations’ biri mu tteeka erifuga ebidduka n'okulwanyisa obubenje ku nguudo erya 1998 wabula nga lyakolebwamu ennongoosereza mu 2020 ne liyisibwa ku ntandikwa y'omwaka guno. Lyagendereddwaamu utaasa bulamu
bw'abantu mu bifo bino olwa baddereeva ba mmotoka n'abagoba ba pikipiki naddala aba bodaboda abavuga endiima.
Minisitule y'entambula ne poliisi bali mu nteekateeka ya kutandika ukwasisa tteeka lino oluvannyuma lw'okumanyisa Bannayuganda bonna ssaako n'okusimba
obupadde obulambika 30km/h okudda mu 50 km/h mu bifo ebikwatibwako n'okubunyisa kkamera ku nguudo.
Ebidduka byonna byakulondoolwa enkola empya eya Intelligent Transport Monitoring System (ITMS). Wabula ebidduka ebyeyambisa enguudo za Expressways naddala olwa Kampala Entebbe Expressway, sipiidi yasigaddeyo ku 100 km/h.
Omukungu wa minisitule y'ebyenguudo n'entambula nga y’omu ku bavunaanyizibwa ku
nteekateeka eno, Judith Karara yagambye bali mu kutendeka baserrikale ba ku nguudo ngeri gye banaakwasisaamu etteeka lino.
Yagambye nti ku nguudo ezimu, obupande bwateereddwaako era bakyagenda mu maaso nga ne bakontulakita abakola enguudo kati kibakakatako okubussaawo.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka mu ggwanga, Micheal Kananura yagambye enkola ya kkamera eziri mu kussibwa ku nguudo okulondoola abavuga endiima zigenda kuwewula ku mulimu gwa poliisi y'ebidduka kuba baddereeva bamala kulaba battulafiki ne akendeeza nga kati kkamera ze ziriko.
Etteeka lino lirina ebibonerezo bikakali nga engassi eyaakagwirawo ya 600,000/- okuva ku 200,000/- ezo ezibadde zitanzibwa abavuga endiima. Engassi ya bitundu 50 ku 100 yassiddwaawo eri abo ababa tebasasudde engassi mu ssaawa 72 (ennaku essatu)
mu kifo ky'ennaku 28 ezibaddewo.
Kino kitegeeza nti engassi eya 600,000/- oluvannyuma lw'ennaku essatu efuuka ya
900,000/- Wabula William Busuulwa, sentebe w'ekibiina ekigatt annannyini bidduka ebisaabaza ebyamaguzi ekya Uganda National Transporters Alliance (UNATA), agamba minisitule y'ebyentambula yandifubye okubunyisa buli kanyomero ka ggwanga ebikwata ku tteeka lino kuba buli muntu limukwatako ate Gavumenti terina busobozi bwa kussa kkamera mu buli kitundu.
Ssentebe w'omukago bw'ebibiina bya ttakisi mu ggwanga, Rashid Sekindi yagambye buli ddereeva naddala owa takisi kimukakatako okulaba ng'agoberera etteeka lino kuba
lissiddwaawo lwa bulungi bwa Bannayuganda.
Ebizibu ebiri mu mulimu gwa takisi bingi wabula waliwo bisobola okwewalibwa ne
bitagattibwa mu birala okusobola okusigala mu bizinensi.
1. Okutomera omuntu n’afa oba okumulumya osasula engassi okuva ku kakadde1 n’ekitundu okutuuka ku bukadde 4 n’okusibwa emyaka 2-5. 2. Okuvuga sipiidi, engassi ya ssente eziri wakati wa 200,000/- ne 600,000/- okusinziira ku ndiima gy’ovuze.
3. Okuvugisa ekimama, engassi ya ssente eziri wakati w’akakadde 1 n’emitwalo 20 n’akakadde 1 n’emitwalo 80 n’okusibwa wakati w’emyaka 2-3.
4. Okwongerera ku ssimu ng’ovuga, engassi ya bukadde 2 oba okusibwa wakati w’omwaka n’emyaka 2 oba byombi (engassi n’ekkomera).
5. Okuvuga ng’otamidde, engassi ya 500,000/- ne kkooti esobola okulagira layisinsi yo
n’esazibwamu.
6. Okuvuga mmotoka eterina layisinsi oba eterina yinsuwa, engassi ya ssente ziri wakati wa mitwalo 20 ne 60 oba okusibwa omwaka oba ebiri okusinziira ku mulamuzi bw’aba asazeewo. 7. Obutasiba musipi engassi ya 80,000/-.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.