OMULABIRIZI w’e Namirembe, Moses Bbanja atongozza Obussaabadinkoni bw’e Namugongo n’atuuza Ssaabadinkoni Ven. Canon Michael Wasswa Ssentamu.
Omuwandiisi w’Obulabirizi bw’e Namirembe, Rev. Canon Henry Ssegawa yannyonnyodde nti obussaabadinkoni buno bwakutuddwa ku bw’e Luzira okwongera okubunya enjiri eri Abakristaayo.
Yagambye nti ekiteeso kino kyakkaanyizibwako abakulu abatuula ku lukiiko lw’Obulabirizi era obussaabadinkoni buno obw’e Namugongo, bwakukolebwa Obusumba 8 okuli; Kyaliwajjala, Bbuye - Kigoowa, Kira, Kiwaatule, Kamuli, Mbalwa n’obulala.
Ng’atuuza Ssaabadinkoni Ven Can. Wasswa n’omukyala Sarah Rose Ssentamu, ng’asinziira ku ssemateeka afuga Ekkanisa ya Uganda, Omulabirizi Bbanja yakwasizza Ssentamu ebbaluwa emuwa obuvunaanyizibwa okufuga emirimu gyonna egy’Ekkanisa mu bussaabadinkoni buno n’okubuulira enjiri ezzaamu essuubi eri abakkiriza.
Ebirala ebyabadde mu bbaluwa eno, kwe kumuwa obuyinza okufuga emirimu gyonna eginaakolebwa mu buweereza buno, okumukkiriza okukola emirimu gyonna mu bussaabadinkoni buno okutuusa lw’alibuvaako era Bp. Bbanja yagitaddeko omukono.
Bbanja era yasabidde Ssaabadinkoni ne ffamire n’abakuutira okuddukiranga eri Katonda buli lwe wanaabangawo okusoomoozebwa mu buweereza buno.
“Nsaba obeere ekyokulabirako eri Abakristaayo bonna abanaasinziza mu buweereza buno, mukulembeze amazima n’obwenkanya mu mirimu gyammwe era byonna by’onookola nsaba biweese Katonda ekitiibwa,”Omulabirizi Banja bwe yasabye.
Eyakulembeddemu okubuulira, Rev. Canon Benon Kityo yamusibiridde entanda okukuuma omumuli gw’Obukristaayo mu bakkiriza ng’abakuutira okwewala okukola ekibi era banyiikirenga okwenenya eri Katonda.
Ye Ssabadinkoni Ssentamu eyatuuziddwa, yeeyamye okulunda ekisibo kya Katonda n’okuzimba Obwakabaka bwe mu kifo kino.
Baakuzimba ofiisi z’ekitebe n’Ekkanisa eby’Obwassaabadinkoni era n’asaba abakkiriza okumukwatirako.
Yeeyamye okusoosowaza okubuulira enjiri ey’obulokozi mu masomero, okubatiza abaana era nga waakussa nnyo essira okuyigiriza abakkiriza Bayibuli.
Yasuubizza okutumbula enkulaakulana ng’assaawo pulojekiti mwe basobola okuggya ensimbi ate n’okukozesa obulungi ebyobugagga by’Ekkanisa naddala ettaka.