BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa omusango gw’okubba munnansi wa Kenya.
Abavunaaniddwa kuliko Detective Constable Phiona Amongi 28, omutuuze w’e Boston Makindye, Detective Constable Isaac Angura 27, abeera Kabalagala police barracks, DC Bernard Galenda 28 ne Shafik Baluku nga bonna babeera mu baalakisi e Kabagala.

Oland Eyabbibwa.
Abawawaabirwa baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti y’eddaala erisooka e Makindye Igga Adiru eyabasomedde omusango era bonna ne bagwegaana.
Baleese abantu baabwe babiri buli omu okubeeyimirira ne bategeeza kkooti nti balina abaana abasoma ng’ate amasomero gagenda kuddamu.
Ate Among yategeezezza omulamuzi nti alina abaana basatu okuli n’owemyezi etaano nga tebaliiko kitaabwe era bw’asibwa babeera basigadde mu bbanga.
Wadde okusaba kwabwe kuwakanyiziddwa omuwaabi wa gavumenti, Hope Rukundo ng’agamba nti bano bayinza okukozesa amaanyi gaabwe okutaataaganya okunoonyereza okukyagenda mu maaso ssaako abajulizi , tebaleese biboogerako mu kkooti ng’ate n'omusango ogubavunaanibwa gwa maanyi.

Abawawaabirwa Mu Kaguli Ka Kkooti E Makindye.
Omulamuzi abawawaabirwa abayimbudde n’agamba nti oludda oluwaabi terulina kyeruleese okukakasa nti banaataataaganya okunoonyereza wabula beesigamye ku kutya okutayinza kutambulizibwako kkooti.
Omulamuzi era agambye nti abawawaabirwa mu kiseera kino batwalibwa nga tebalina musango okutuusa nga gubasinze wabula oludda oluwaabi lugamba lukyanoonyereza kyokka terulaze ddi bwe lunaamaliriza.
Ono abayimbudde ku kakalu ka kakadde kamu buli omu ezitali za buliwo ate ababeeyimiridde n’abasalira obukadde 10, nazo ezitali za buliwo. Omusango baavunaaniddwa gwa kubbisa maanyi wabula nga tebeeyambisizza kissi.

Omuwawaabirwa Omulala Ng'awuliriza Bwe Baabadde Bamusomera Omusango.
Empaaba y’oludda oluwaabi eyabasomeddwa mu kkooti egamba nti abawawaabirwa nga January 17, 2024 ku Royal View Hotel e Buziga mu munisipaali y’e Makindye baanyaga Muhammad Oland Abdirhaman 37, ddoola emitwalo 30 ezibalirwamu eza Uganda obukadde 110.
Kigambibwa nti abaserikale bano okunyaga Oland omusubuuzi w’omu Kisenyi yali apangisizza ekisulo ku wooteri eyo n’asaba maneja amufunire w’ayinza okuvungisiza ddoola azizze mu za Uganda nga yali ayagala kugula mmotoka ekika kya ttipa ekole emirimu.