EKIBIINA kya NUP kinaabidde Moses Bigirwa mu maaso ne kimugoba ku kifo ky’okukwanaganya emirimu gy’ekibiina mu kitundu ky’obukiikakkono bw’eggwanga nga bamulanga busiiwuufu bwa mpisa.
Mu lukiiko olwatudde ku kitebe kya NUP e Makerere - Kavule ku Lwokubiri, olwakubiriziddwa Robert Kyagulanyi Ssentamu lwasazeewo okuyimiriza Bigirwa ne bamusikiza Andrew Kaluya eyali omubaka wa Kigulu South. Olukiiko lwetabyemu abakulembeze b’ekibiina abalala okuli; Ssaabawandiisi Louis Rubongoya, Waiswa Mufumbiro amyuka omwogezi w’ekibiina, Ssaabakunzi w’ekibiina Fred Nyanzi, n’abakulembeze b’e Busoga okwabadde; Baamu Lulenzi Mmeeya w’e Iganga, Saul Nsongambi, Hussein Muyonjo (Swengere), Andrew Muwanguzi, Manjeri Kyebakutika
mukazi/Jinja City) Bigirwa n’abalala.
Ensonda zaategeezezza nti olukiiko lwonna awatali kwesalamu lwasazeewo Bigirwa awummuzibwe kuba baludde nga bamubuulirira naye nga tawulira.
Emu ku nsonga eyasinze okumuleetera obuzibu ke katambi okuli eddoboozi erigambibwa okuba erirye ng’ayogera n’omukazi ali e Bungereza abadde alumiriza nga Kyabazinga William Nadiope bw’ali bba.
Mu katambi, Bigirwa awulirwa ng’agamba omukazi amuweereze obukadde 20 asobole okuziwa ba ‘blogger’ ba NUP basobole okulwanyisa embaga ya Kyabazinga ereme kubeerayo.
Abakulembeze ba NUP bwe baawulira eddoboozi lino, baaliweereza Kyagulanyi yennyini ne bamusaba ayingire mu nsonga eno butereevu kuba kyali kyonoona ekifaananyi ky’ekibiina.
Emisango emirala gye baalumirizza Bigirwa kwe kwekulubeeseza ku banene ba NRM olutatadde awamu n’okukanda abantu ssente ng’abasuubizza okubafunira tiketi z’okwesimbawo mu 2026.
Mmeeya Baamu Lulenzi yakakasizza nga olukiiko bwe yalubaddemu ne bayimiriza Bigirwa n’agamba nti kyakoleddwa olw’okwongera okwetereeza kuba munnaabwe abadde abavumaganya mu ngeri gye yeeyisaamu.
BIGIRWA ANNYONNYODDE
Bigirwa yategeezezza Bukedde nga bwe kiri ekituufu nti yawummuziddwa olukiiko olwakubiriziddwa Pulezidenti Kyagulanyi yennyini lw’agamba nti lwamulanze bwemage kuba tebaamuwadde mukisa kwennyonnyolako.
Yagambye nti akatambi akoogerwako eddoboozi si lirye wadde nga lyefaanaanyiriza kuba ng’omusajja Omusoga ava e Bugabula tewali ngeri gye yali ayinza kulwanyisa mbaga ya Kyabazinga era abadde yeetaba mu nteekateeka zonna. Ku bigambibwa nti abadde asuubiza abantu kkaadi n’abaggyako ssente yagambye nti bya bulimba kuba akakiiko weekali akakola ku nsonga eno. “Abantu bangi e Busoga bankwatirwa obuggya olw’engeri gye ntunze ekibiina ne ntuuka n’okusikiriza omubaka David
sabirye (Jinja City Northern Division) owa FDC okukkiriza okwegatta ku NUP mu kulonda okujja,” Bigirwa bwe yagambye.